YouVersion Logo
Search Icon

Amas 40

40
1Oluvannyuma, omusenero wa kabaka w'e Misiri n'omufumbiro we ne basobya ewa mukama waabwe, kabaka w'e Misiri. 2Faraawo n'asunguwalira abakungu be abo bombi, omukulu w'abasenero n'omukulu w'abafumbiro, 3n'abassa mu kkomera mu nnyumba y'omukulu w'abakuumi, mu kkomera ne Yozefu mwe yali. 4Omukulu w'abakuumi n'abakwasa Yozefu; n'akolanga ku byetaago byabwe. Ne bamala akabanga nga basibe.
5Olumu bombi, omukulu w'abasenero n'omukulu w'abafumbiro ba kabaka w'e Misiri abaali basibiddwa mu kkomera, ne baloota ebirooto mu kiro kimu naye nga buli kimu kirina amakulu gaakyo. 6Ku makya Yozefu bwe yajja gye bali n'alaba nga banakuwavu, 7n'abuuza abakungu ba Faraawo abaali naye mu kkomera mu nnyumba ya mukama we nti: “Lwaki mutunuza nnaku olwa leero?” 8Ne bamwanukula nti: “Twafunye ebirooto naye tewali abituvvuunulira.” Yozefu n'abagamba nti: “Okuvvuunula si kya Katonda? Munnyumize.”
9Omukulu w'abasenero n'anyumiza Yozefu ekirooto kye, n'agamba nti: “Mu kirooto kyange, laba awo mu maaso gange waabaddewo omuzabbibu. 10Ku muzabbibu kwabaddeko amatabi asatu, amangu ago ne gutojjera, ne gumulisa, ne gussaako ebirimba by'emizabbibu, ne gyengera. 11Nabadde nkutte ekikopo kya Faraawo nga nnoga emizabbibu ne nkamulira mu kikopo ne nkiweereza Faraawo.” 12Yozefu n'ayanukula nti: “Kino, ekirooto kye kitegeeza: Amatabi asatu gategeeza ennaku ssatu. 13Mu nnaku ssatu Faraawo ajja kukuta akuzze mu kifo kye waliko, oddemu okussanga ekikopo kya Faraawo mu ngalo ze mu ngeri ye emu nga bwe wakolanga mu kusooka ng'okyali musenero we. 14Kyokka onzijukiranga bwe binaaba bikugendedde bulungi, nange n'ongirira ekisa, n'onjogerako eri Faraawo, onzigye mu kkomera lino, 15kubanga mu nsi y'Abeebureeyi nabbibwayo bubbibwa, n'okuba sikolanga kintu kyonna kinsaanyiza kubeera mu nkomyo muno.”
16Omukulu w'abafumbiro, bwe yalaba ng'ekirooto akivvuunudde bulungi, n'agamba Yozefu nti: “Nange naloose: nabadde nettise ebisero bisatu eby'emigaati ku mutwe. 17Mu kisero ekimu ekisookera ddala waggulu nga mulimu buli kika kya mmere ya Faraawo ekifumbibwa mu butta. Naye ebinyonyi obwedda bijja ne bigiriira mu kisero ku mutwe gwange.” 18Yozefu n'ayanukula nti: “Kino, ekirooto kye kitegeeza: Ebisero ebisatu bitegeeza ennaku ssatu. 19Mu nnaku ssatu Faraawo ajja kukuggya mu kkomera, akuwanike ku kalabba, ebinyonyi bikusojjogoleko ennyama yo.”
20Nga wayise ssatu Faraawo n'akuza amazaalibwa ge, n'akolera abakungu be embaga nnene. N'ata omukulu w'abasenero n'omukulu w'abafumbiro mu maaso g'abakungu be. 21Omukulu w'abasenero n'amuzza mu kifo kye n'addamu okussanga ekikopo mu ngalo za Faraawo. 22Naye omukulu w'abafumbiro n'amuwanika ku kalabba, nga Yozefu bwe yali abavvuunudde. 23Kyokka omukulu w'abasenero teyajjukira Yozefu; yamwerabira.
Ebirooto bya Faraawo

Currently Selected:

Amas 40: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in