1
Amas 42:21
BIBULIYA ENTUKUVU
Ne bagambagana bokka na bokka nti: “Tubonerezebwa lwa muganda waffe; twalaba ennaku gye yalimu n'atuwanjagira tuwonye obulamu bwe, naye ne tutamuwuliriza; ennaku eno kyevudde etujjira.”
Compare
Explore Amas 42:21
2
Amas 42:6
Kati Yozefu yali mukungu atwala ensi, nga y'aguza abantu eŋŋano. Baganda be bwe bajja, ne bagwa wansi ku maaso gaabwe ku ttaka ne bamuvunnamira.
Explore Amas 42:6
3
Amas 42:7
Bwe yabalaba n'abategeera, naye ne yeeyisa ng'atabamanyi, n'ayogera nabo na bukambwe; n'ababuuza nti: “Muva wa?” Ne baanukula nti: “Mu nsi y'e Kanaani, tuzze kugula mmere.”
Explore Amas 42:7
Home
Bible
Plans
Videos