YouVersion Logo
Search Icon

Amas 39

39
1 # 37,36. Yozefu yali atwaliddwa e Misiri. Potifari Omumisiri, omukungu wa Faraawo omukulu w'abakuumi be, n'amugula ku Bayisimayeli abaali bamututteyo. 2Omukama yali naye; ng'ebintu bimugendera bulungi; yasulanga mu nnyumba ya mukama we Omumisiri. 3Mukama we yali ategedde bulungi ng'Omukama ali naye, na byonna Yozefu bye yakolanga ng'abiwa okulama. 4Awo Yozefu n'asanga ekisa mu maaso ga mukama we, n'amukuza, n'amuwa okulabirira ennyumba ye, n'amufuula omuwanika w'ebintu bye byonna bye yalina. 5Potifari bwe yakwasa Yozefu obuvunaanyizibwa ku nnyumba ye n'ebibye byonna, Omukama n'awa omukisa ennyumba y'Omumisiri olw'okubeera Yozefu. Omukisa gw'Omukama ne gubeera ku bintu bye byonna: eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro. 6Byonna bye yalina n'abireka mu mikono gya Yozefu, nga takyalina kirala kyonna kimweraliikiriza, mpozzi emmere gye yalyanga.
Yozefu asibibwa mu kkomera
Yozefu yali afaanana bulungi, nga mulungi mu ndabika; 7ebbanga teryayita ddene mukazi wa mukama we n'amwegomba, n'amusaba nti: “Weebake nange.” 8N'agaana. N'agamba muka mukama we nti: “Olaba okuva mukama wange byonna lwe yabissa mu mikono gyange, takyeraliikirira kantu mu nnyumba ye. 9Mu nnyumba eno temuli ankira bukulu; tewali kirala kyonna ky'atassa mu mikono gyange okuggyako ggwe, kubanga ggwe oli mukazi we. Nze nnyinza ntya okukola ekibi ekyenkana awo, ne nnyonoona eri Katonda?” 10Newandibadde omukazi yateetezanga Yozefu buli lunaku, naye Yozefu yagaana okwebaka naye, wadde okuba okumpi naye.
11Olumu Yozefu n'ayingira mu nnyumba okukola omulimu gwe; temwali muntu mulala mu nyumba; 12muka Potifari n'amukwata omunagiro gwe nga bw'amugamba nti: “Jjangu weebake nange.” Ye ne yeesumattula n'amulekera omunagiro mu ngalo, n'afuluma ebweru. 13Omukazi yalaba omunagiro agumulekedde mu ngalo, naye n'adduka n'afuluma ebweru, 14n'akoowoola abantu ab'omu nnyumba ye n'abagamba nti: “Ono omusajja Omwebureeyi baamuleeta wano kutujooga? Ayingidde ewange asobye nange, naye nze ne nkuba enduulu. 15Bw'alabye nkubye enduulu, n'aleka omunagiro gwe we mbadde, n'adduka n'afuluma.”
16Omunagiro n'agukuuma okutuusa nnyinimu lwe yadda. 17N'amunyumiza mu ngeri ye emu ebyabaddewo nti: “Omuddu Omwebureeyi gwe waleeta yazze ewange okunjooga; 18bwe nawogganye ne nkuba enduulu, n'aleka awo omunagiro gwe we nabadde n'adduka n'afuluma.” 19Nnyinimu bwe yawulira ebigambo bya mukazi we, ng'agamba nti: “Bw'atyo omuddu bwe yampisizza,” obusungu bwe ne bwesera; 20Mukama wa Yozefu n'akwata Yozefu n'amuggalira mu kkomera, abasibe ba kabaka mwe baakuumirwanga. Yozefu n'abeera eyo mu kkomera.
21Naye Omukama yali wamu ne Yozefu, n'amugirira ekisa, n'amuwa omukisa gwe ng'omukuumi w'ekkomera amuyisa bulungi. 22Omukuumi w'ekkomera n'akwasa Yozefu abasibe bonna abaali bakuumirwa mu kkomera; n'amuwa obuvunaanyizibwa ku buli kyonna ekyakolebwangayo. 23Omukuumi w'ekkomera nga tafa nayo kulondoola Yozefu bye yali akola, kubanga Omukama yali naye; nga byonna by'akola abiwadde okulama.
Yozefu alootolola abasibe

Currently Selected:

Amas 39: BIBU1

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in