YouVersion Logo
Search Icon

Zeffaniya 2

2
1 # Yer 6:15 Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane, ai eggwanga eritalina kukwatibwa nsonyi; 2#2 Bassek 23:26etteeka nga terinnaba kuzaala, olunaku nga terunnayita ng'ebisusunku, ekiruyi kya Mukama nga tekinnabatuukako, olunaku olw'obusungu bwa Mukama, nga terunnabatuukako. 3#Zab 76:9, Is 26:20, Am 5:6,14,15Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab'omu nsi, abakola emisango gye; munoonye obutuukirivu, munoonye obuwombeefu: mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama. 4#Am 1:6-8Kubanga Gaza kirirekebwawo, ne Asukulooni kiriba matongo: Asudodi balikigoba mu ttuntu, ne Ekuloni kirisimbulibwa. 5#Yos 13:3, Ez 25:16Zibasanze abo abali ku lubalama lw'ennyanja, amawanga ag'Abakeresi! Ekigambo kya Mukama kiboolekedde, ai Kanani, ensi ey'Abafirisuuti; ndikuzikiriza so tewaliba atuula omwo. 6N'olubalama lw'ennyanja luliba malundiro, nga mulimu ensiisira ez'abasumba n'ebisibo eby'embuzi. 7#Zek 10:3, Luk 1:68Era olubalama lw'ennyanja luliba lwa kitundu ky'ennyumba ya Yuda ekifisseewo; banaalundiranga eyo: mu nnyumba za Asukulooni mwe banaagalamiranga akawungeezi; kubanga Mukama Katonda waabwe alibajjira n'akomyawo obusibe bwabwe. 8#Yer 48:27, Ez 25:3,6Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n'okuyomba kw'abaana ba Amoni kwe bavumye abantu bange ne beegulumiriza ku nsalo yaabwe. 9#Ma 29:23Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, mazima Mowaabu aliba nga Sodomu, n'abaana ba Amoni nga Ggomola, ekifo emyennyango kye gyemala, n'obunnya obw'omunnyo, n'amatongo agatalivaawo: abantu bange abaliba basigaddewo balibanyaga, n'ekitundu ky'eggwanga lyange ekifisseewo kiribasikira. 10#Is 16:6Olw'amalala gaabwe kyebaliva babeera n'ekyo, kubanga bavumye abantu ba Mukama w'eggye ne babeegulumirizaako. 11#Zab 22:27, Mal 1:11Mukama aliba wa ntiisa gye bali: kubanga alikozza bakatonda bonna ab'ensi zonna; kale abantu balimusinza, buli muntu ng'ayima mu kifo kye, ebizinga byonna eby'amawanga. 12Nammwe Abaesiyopya, mulittibwa n'ekitala kyange. 13#Is 10:12, Nak 3:7Era aligololera omukono gwe ku bukiika obwa kkono n'azikiriza Obwasuli; n'afuula Nineeve okuba amatongo era ekikalu ng'eddungu. 14#Is 34:11,13,14, Yer 22:14,15Era ente zinaagalamiranga wakati mu kyo, ensolo zonna ez'amawanga: kimbala era ne nnamunungu banaasulanga ku mitwe gy'empagi zaakyo: eddoboozi lyabwe linaayimbiranga mu madirisa; okuzikirira kunaabanga mu miryango: kubanga ayerudde enjola ez'emivule. 15#Is 47:8, Yer 19:8, Nak 3:19Kino kye kibuga eky'essanyu ekyegololanga, ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti Nze wendi so tewali mulala wabula nze: nga kifuuse matongo, ekifo ensolo we zigalamira! buli muntu akiyitako anaasoozanga n'anyeenya omukono gwe.

Currently Selected:

Zeffaniya 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in