YouVersion Logo
Search Icon

Zeffaniya 3

3
1 # Yer 6:6 Zikisanze ekijeemu ekyo era ekyonoonefu, ekibuga ekijooga! 2#2 Bassek 23:26Tekyagondera ddoboozi; tekyakkiriza kubuulirirwa; tekyesiga Mukama; tekyasemberera Katonda waakyo. 3#Zab 76:9, Is 26:20, Am 5:6,14,15Abakungu baamu wakati mu kyo mpologoma eziwuluguma; abalamuzi baamu misege gya kiro; tebafissaawo kintu okutuusa enkya. 4#Ez 22:26Bannabbi baamu biwowongole, era ba nkwe: bakabona baakyo bayonoona ekifo ekitukuvu, bagiridde amateeka ekyejo. 5#Yer 12:1, Kos 6:5Mukama ali wakati mu kyo mutuukirivu; talikola ebitali bya butuukirivu; buli nkya ayolesa omusango gwe, talekaayo; naye atali mutuukirivu tamanyi kukwatibwa nsonyi. 6#Zef 2:4-15, Zek 7:14Mmazeewo amawanga, amakomera gaabwe galekeddwawo; nzisizza enguudo zaabwe, ne wataba ayitawo: ebibuga byabwe bizikiridde, ne watabaawo muntu so tewali atuulamu. 7#Mi 7:3Nayogera nti Mazima onontya, onokkiriza okubuulirirwa; kale ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, nga byonna bwe biri bye nnalagira ku lwakyo: naye ne bagolokokanga mu makya ne boonoona ebikolwa byabwe byonna. 8#Yo 3:2, Kaab 2:3, Zef 1:18Kale munnindirire, bw'ayogera Mukama, okutuusa ku lunaku lwe ndigolokoka okukwata omuyiggo: kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, ndeete obwakabaka okubafukako okunyiiga kwange, ekiruyi kyange kyonna; kubanga ensi zonna omuliro ogw'obuggya bwange gulizirya. 9#Is 6:5; 19:18Kubanga mu biro ebyo ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabire erinnya lya Mukama, okumuweereza n'omwoyo gumu. 10#Zab 68:31, Is 60:4Abo abanneegayirira, ye muwala w'abange abasaasaana, balireeta ekitone kyange nga bava emitala w'emigga egy'Obuwesiyopya. 11#Is 2:11, Mal 4:1, Mat 3:9Ku lunaku olwo tolikwatibwa nsonyi olw'ebikolwa byo byonna bye wansobya: kubanga lwe ndiggya wakati mu ggwe ababo abeenyumiriza n'amalala, so naawe toliba na kitigi nate ku lusozi lwange olutukuvu. 12#Is 14:32Naye ndireka wakati mu ggwe abantu ababonyaabonyezebwa era abaavu, era balyesiga erinnya lya Mukama. 13#Is 60:21, Mi 5:4, Kub 14:5Ekitundu kya Isiraeri ekirifikkawo tebalikola ebitali bya butuukirivu so tebalyogera eby'obulimba so n'olulimi olukuusa terulirabika mu kamwa kaabwe: kubanga balirya, baligalamira, so tewaliba alibatiisa. 14#Is 12:6; 54:1, Zek 9:9Yimba, ai omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ai Isiraeri; sanyuka ojaguze n'omutima gwonna, ai omuwala wa Yerusaalemi. 15#Zab 46:5, Zek 2:10, Mat 27:42, Yok 1:49, Kub 21:3Mukama aggyeewo emisango gyo, agobye omulabe wo: kabaka wa Isiraeri, Mukama, ali wakati mu ggwe: tolitya bubi nate lwa kubiri. 16#Is 35:3Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti Totya: ai Sayuuni, emikono gyo gireme okuddirira. 17#Is 62:5; 63:1Mukama Katonda wo ali wakati wo, ow'amaanyi anaalokola: alikusanyukira n'essanyu, aliwummulira mu kwagala kwe, alikusanyukira ng'ayimba. 18#Kung 1:4; 2:6Ndikuŋŋaanya abo abanakuwalira okukuŋŋaana okutukuvu, abaali ababo: omugugu ogwali ku kyo kyali kivume gye bali. 19#Is 60:14, Yer 13:11, Mi 4:6Laba, mu biro ebyo ndibonereza abo bonna abakubonyaabonya: era ndirokola omukazi awenyera, ne nkuŋŋaanya oyo eyagobebwa; era ndibafuula ettendo n'erinnya abakwatirwa ensonyi mu nsi zonna. 20#Ez 11:17, Zef 2:7Mu biro ebyo ndibayingiza, nemu biro ebyo ndibakuŋŋaanya: kubanga ndibafuula erinnya n'ettendo mu mawanga gonna ag'omu nsi zonna, bwe ndikomyawo obusibe bwange mmwe nga mulaba, bw'ayogera Mukama.

Currently Selected:

Zeffaniya 3: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in