YouVersion Logo
Search Icon

Zeffaniya 1

1
1 # 2 Bassek 22:1, Yer 1:2 Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, mutabani wa Gedaliya, mutabani wa Amaliya, mutabani wa Kezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda.
2 # 2 Bassek 22:16,17, Yer 8:13 Ndizikiririza ddala byonna okuva ku maaso g'ensi, bw'ayogera Mukama. 3#Kos 4:3Ndimalawo omuntu n'ensolo; ndizikiriza ennyonyi ez'omu bbanga n'eby'ennyanja ebiri mu nnyanja, n'enkonge wamu n'ababi: era ndimalawo abantu okuva ku maaso g'ensi, bw'ayogera Mukama. 4#2 Bassek 23:4,5Era ndigololera ku Yuda omukono gwange ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi; era ndimalawo ekitundu kya Baali ekifisseewo okuva mu kifo kino, n'erinnya lya Bakemali wamu ne bakabona; 5#Yer 19:13; 49:1n'abo abasinziza eggye ery'omu ggulu ku nnyumba waggulu; n'abo abasinza, abalayirira Mukama nga balayira Malukamu; 6#Yer 15:6n'abo abazze ennyuma obutagoberera Mukama; n'abo abatanoonyanga Mukama newakubadde okumubuuza.
7 # 1 Sam 16:5, Is 13:6, Yer 46:10, Ez 39:17, Kaab 2:20 Bunira awali Mukama Katonda: kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi: kubanga Mukama ategese ssaddaaka, atukuzizza abagenyi be. 8#2 Bassek 24:12,14Awo olulituuka ku lunaku Mukama kw'aliweerayo ssaddaaka ndibonereza abakungu n'abaana ba kabaka n'abo bonna abambadde ebyambalo ebinnaggwanga. 9Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna ababuuka ku mulyango, abajjuza ennyumba ya mukama waabwe ekyejo n'obulimba. 10#2 Byom 33:14Awo ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, walibaawo eddoboozi ery'okuleekaana eriva ku mulyango ogw'ebyennyanja, n'okuwowoggana okuva mu luuyi olw'okubiri, n'okubwatuuka okunene okuva ku nsozi. 11#Kos 12:7, Zek 14:21, Yak 5:1Muwowoggane, mmwe abali mu Makutesi, kubanga abantu bonna aba Kanani zibasanze: n'abo abeebinikanga ffeeza bazikiridde. 12#Zab 94:7, Yer 48:11, Ez 8:12, Am 6:1; 9:3Awo olulituuka mu biro ebyo nditaganjula Yerusaalemi n'ettabaaza; era ndibonereza abasajja abatesengezze ebbonda lyabwe, aboogera mu mutima gwabwe nti Mukama talikola bulungi so talikola bubi. 13#Am 5:11, Mi 6:15N'obugagga bwabwe bulifuuka munyago, n'ennyumba zaabwe matongo; weewaawo, balizimba ennyumba naye tebalizituulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu naye tebalinywa mwenge gwamu. 14#Ez 7:7,12Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi, luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo, eddoboozi ery'olunaku lwa Mukama; omusajja ow'amaanyi alikaabira eyo ng'aliko obuyinike bungi. 15#Yo 1:15; 2:2Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike n'okulaba ennaku, lunaku lwa kuziikirako n'okulekebwawo, lunaku lwa kizikiza n'ekikome, lunaku lwa bire n'ekizikiza ekikutte, 16#Yer 4:19lunaku lwa kkondeere n'okulawa, eri ebibuga ebiriko enkomera n'eri ebigo ebigulumivu. 17#Ma 28:29, Zab 79:3; 83:10Era ndireeta obuyinike ku bantu, batambule ng'abazibe b'amaaso, kubanga bayonoonye Mukama: n'omusaayi gwabwe gulifukibwa ng'enfuufu, n'omubiri gwabwe ng'obusa. 18#Ez 7:19; 36:5Effeeza yaabwe teriyinza kubawonyeza ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama newakubadde ezaabu yaabwe; naye ensi yonna omuliro ogw'obuggya bwe guligyokya: kubanga alimalawo, weewaawo, alimalirawo ddala n'entiisa abo bonna abali mu nsi.

Currently Selected:

Zeffaniya 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy