YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 6

6
1 # Kub 4:6; 5:1,2,6,8 Ne ndaba Omwana gw'endiga bwe yabembula ku bubonero omusanvu ko akamu, ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera ng'eddoboozi ery'okubwatuka nti Jjangu. 2#Zek 1:8; 6:1-3Ne ndaba, era, laba, embalaasi enjeru, n'oyo atuddeko ng'alina omutego; n'aweebwa engule: n'agenda ng'awangula, era awangule.
3Bwe yabembula akabonero ak'okubiri, ne mpulira ekiramu eky'okubiri nga kyogera nti Jjangu. 4N'evaayo embalaasi endala eya lukunyu: era oyo eyali atuddeko n'aweebwa okuggyawo emirembe ku nsi, era battiŋŋane bokka na bokka: n'aweebwa ekitala ekinene.
5Bwe yabembula akabonero ak'okusatu ne mpulira ekiramu eky'okusatu nga kyogera nti Jjangu. Ne ndaba, era, laba, embalaasi enzirugavu; n'eyali atuddeko ng'alina ekigera mu mukono gwe. 6Ne mpulira ng'eddoboozi wakati w'ebiramu ebina nga lyogera nti Ekiyi ky'eŋŋaano kya ddinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya ddinaali; amafuta n'omwenge so tobyonoona.
7Bwe yabembula akabonero ak'okuna, ne mpulira eddoboozi ly'ekiramu eky'okuna nga kyogera nti Jjangu. 8#Kos 13:14, Yer 15:3, Ez 5:12; 14:21; 29:5; 33:27; 34:28Ne ndaba, era, laba, embalaasi eya kyenvu; n'eyali atuddeko, erinnya lye Kufa; ne Magombe n'agenda naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu eky'okuna eky'ensi, okutta n'ekitala n'enjala n'olumbe n'ensolo z'ensi.
9 # Kub 8:5; 14:18; 16:7 Bwe yabembula akabonero ak'okutaano, ne ndaba wansi w'ekyoto emyoyo gyabwe abattibwa olw'ekigambo kya Katonda, n'olw'okutegeeza kwe baalina: 10#Zek 1:12, Zab 79:10, Ma 32:43, Lub 4:10, 2 Bassek 9:7, Kos 4:1ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti Olituusa wa, Mukama, omutukuvu era ow'amazima, obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi? 11#Kub 3:4; 7:9, Mat 23:32Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru; ne bagambibwa okuwummula nate akaseera katono, okutuusa baddu bannaabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa.
12 # Is 13:10, Ez 32:7,8, Yo 2:30, Luk 21:25 Bwe yabembula akabonero ak'omukaaga, ne ndaba, ne waba ekikankano kinene; enjuba n'eddugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonna ne guba ng'omusaayi; 13#Is 34:4; 13:10n'emmunyeenye ez'omu ggulu ne zigwa ku nsi, ng'omutiini bwe gukunkumula amagu gaagwo, nga gunyeenyezebwa empewo ennyingi. 14N'eggulu ne liggibwawo, ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwa; na buli lusozi n'ekizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo. 15#Zab 48:4; 2:2, Is 24:21; 34:12; 2:10,19,21, Yer 4:29ne bakabaka b'ensi, n'abalangira, n'abagabe, n'abagagga, n'ab'amaanyi, na buli muddu n'ow'eddembe ne beekweka mu mpuku ne mu mayinja ag'oku nsozi; 16#Kos 10:8, Is 6:1, Zab 47:8, Luk 23:30ne bagamba ensozi n'amayinja nti Mutugweko, mutukise mu maaso g'oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'endiga: 17#Yo 2:11,31, Mal 3:2, Zef 1:14,18, Bar 2:5kubanga olunaku olukulu olw'obusungu bwabwe lutuuse; era ani ayinza okuyimirirawo?

Currently Selected:

Okubikkulirwa 6: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in