Okubikkulirwa 7
7
1 #
Ez 7:2; 37:9, Dan 7:2, Zek 6:5, Mat 24:31 Oluvannyuma ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku nsonda nnya ez'ensi, nga bakutte empewo nnya ez'ensi, empewo yonna ereme okukunta ku nsi, newakubadde ku nnyanja, newakubadde ku muti gwonna. 2Ne ndaba malayika omulala ng'alinnya okuva ebuvanjuba, ng'alina akabonero ka Katonda omulamu: n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba bamalayika abana, abaaweebwa okwonoona ensi n'ennyanja, 3#Ez 9:4,6ng'ayogera nti Temwonoona nsi, newakubadde ennyanja, newakubadde emiti, okutuusa lwe tulimala okuteeka akabonero abaddu ba Katonda waffe ku byenyi byabwe. 4#Kub 14:1,3Ne mpulira omuwendo gwabwe abaateekebwako akabonero, baali kasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaateekebwako akabonero mu buli kika ky'abaana ba Isiraeri.
5Ab'omu kika kya Yuda abaateekebwako akabonero kakumi mu enkumi bbiri:
Ab'omu kika kya Lewubeeni kakumi mu enkumi bbiri:
Ab'omu kika kya Gaadi kakumi mu enkumi bbiri:
6Ab'omu kika kya Aseri kakumi mu enkumi bbiri:
Ab'omu kika kya Nafutaali kakumi mu enkumi bbiri:
Ab'omu kika kya Manaase kakumi mu enkumi bbiri:
7Ab'omu kika kya Simyoni kakumi mu enkumi bbiri:
Ab'omu kika kya Leevi kakumi mu enkumi bbiri:
Ab'omu kika kya Isakaali kakumi mu enkumi bbiri:
8Ab'omu kika kya Zebbulooni kakumi mu enkumi bbiri:
Ab'omu kika kya Yusufu kakumi mu enkumi bbiri:
Ab'omu kika kya Benyamini abaateekebwako akabonero kakumi mu enkumi bbiri.
9 #
Kub 6:11
Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba, era laba, ekibiina kinene omuntu yenna ky'atayinza kubala, mu buli ggwanga n'ebika n'abantu n'ennimi, nga bayimiridde mu maaso g'entebe ne mu maaso g'Omwana gw'endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, n'amatabi g'enkindu mu mikono gyabwe; 10#Kub 12:10ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti Obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'endiga. 11#Kub 5:11; 11:16Ne bamalayika bonna baali bayimiridde nga beetoolodde entebe n'abakadde n'ebiramu ebina; ne bavuunama amaaso gaabwe mu maaso g'entebe, ne basinza Katonda, 12nga boogera nti Amiina: omukisa n'ekitiibwa n'amagezi n'okwebaza n'ettendo n'obuyinza n'amaanyi bibenga eri Katonda waffe emirembe n'emirembe. Amiina. 13Omu ku bakadde n'addamu, ng'aŋŋamba nti Bano abambadde ebyambalo ebyo ebyeru, be baani, era bava wa? 14#Dan 12:1, Lub 49:11, Mat 24:21, Beb 9:14Ne mmugamba nti Mukama wange, gw'omanyi. N'aŋŋamba nti Bano be baava mu kubonaabona kuli okungi, ne bayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw'Omwana gw'endiga. 15#Kub 21:3,22Kyebavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda; ne bamuweerezanga emisana n'ekiro mu yeekaalu ye: n'oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo. 16#Is 49:10Tebalirumwa njala nate, so tebalirumwa nnyonta nate, so omusana tegulibookya, newakubadde okwokya kwonna: 17#Ez 34:23, Kub 5:6, Yer 2:13; 31:16, Zab 23:2, Is 25:8kubanga Omwana gw'endiga ali wakati w'entebe n'anaabalundanga, era alibaleeta eri enzizi ez'amazzi ag'obulamu: era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.
Currently Selected:
Okubikkulirwa 7: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.