ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, nga boogera nti Olituusa wa, Mukama, omutukuvu era ow'amazima, obutasala musango n'obutawalana ggwanga olw'omusaayi gwaffe ku bo abatuula ku nsi? Ne baweebwa buli muntu ekyambalo ekyeru; ne bagambibwa okuwummula nate akaseera katono, okutuusa baddu bannaabwe ne baganda baabwe lwe baliwera, abagenda okuttibwa, nga nabo bwe battibwa.