YouVersion Logo
Search Icon

Abafiripi 2

2
1Kale oba nga waliwo okukubagiza kwonna mu Kristo, oba ng'okusanyusa kwonna okw'okwagala, oba ng'okussa ekimu kwonna okw'Omwoyo, oba ng'okusaasira n'ekisa 2mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala kumu, omwoyo gumu, nga mulowooza bumu; 3#Bag 5:26, Bar 12:10temukolanga kintu kyonna olw'okuyomba newakubadde olw'ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka; 4#1 Kol 10:24,33temutunuuliranga buli muntu ebibye yekka, era naye buli muntu n'eby'abalala. 5Mmwe mubeerengamu okulowooza kuli, era okwali mu Kristo Yesu; 6#Yok 1:1,2; 17:5, Lub 1:27; 3:5oyo bwe yasooka okubeera mu kifaananyi kya Katonda, teyalowooza kintu ekyegombebwa okwenkanankana ne Katonda, 7#Is 53:3, 2 Kol 8:9, Beb 2:14,17naye yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y'omuddu, n'abeera mu kifaananyi ky'abantu; 8#Beb 12:2; 5:8, Yok 10:17era bwe yalabikira mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowaza, nga muwulize okutuusa okufa, era okufa okw'oku musalaba. 9#Bik 2:33, Bef 1:21, Beb 1:3,4Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna; 10#Is 45:23, Yok 5:23, Kub 5:13buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery'eby'omu ggulu n'eby'oku nsi n'ebya wansi w'ensi, 11era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.
12 # 1 Peet 1:17, Zab 2:11 Kale, abaagalwa bange, nga bwe mwawuliranga ennaku zonna, si nga nze lwe mbeerawo lwokka, naye kaakano okusinga ennyo nga ssiriiyo, mutuukirizenga obulokozi bwammwe bennyini n'okutya n'okukankana; 13#Yok 15:5, 2 Kol 3:5, 1 Bas 2:13kubanga Katonda yakoza mu mmwe okwagala n'okukola, olw'okusiima kwe okulungi. 14#1 Peet 4:9Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga n'empaka; 15#Mat 5:14; 10:16, Baf 1:10, Bef 5:8, Ma 32:5, Bik 2:40mulemenga okubaako kye munenyezebwa newakubadde ettima, abaana ba Katonda abatalina mabala wakati w'emirembe egyakyama emikakanyavu, gye mulabikiramu ng'ettabaaza z'omu nsi, 16#1 Bas 2:19, Bag 2:2, Is 49:4; 65:23nga mwolesa ekigambo eky'obulamu; ndyoke mbeere n'okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, kubanga ssaddukira bwereere, so ssaafubira bwereere. 17#Bar 15:16, 2 Tim 4:6Naye newakubadde nga nfukibwa ku ssaddaaka n'okuweereza okw'okukkiriza kwammwe, nsanyuka era nsanyukira wamu nammwe mwenna: 18#Baf 3:1; 4:4era nammwe bwe mutyo musanyuke era musanyukire wamu nange.
19Naye nsuubira mu Mukama waffe Yesu, okubatumira amangu Timoseewo, nange ndyoke ngume omwoyo, bwe ndimala okutegeera ebifa gye muli. 20#1 Kol 16:10Kubanga sirina muntu mulala alina emmeeme eyenkana n'ey'oyo, aligenderera ebyammwe mu mazima. 21#2 Tim 4:10,16, Bag 4:17Kubanga abo bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, si bya Yesu Kristo. 22Naye ekimutegeezesa mukimanyi, nga yaweerezanga wamu nange olw'enjiri, ng'omwana eri kitaawe. 23Kale oyo nsuubira okumutuma amangu, kyokka bwe ndimala okulaba ebifa gye ndi: 24#Baf 1:25naye nsuubira mu Mukama waffe nti nange ndijja mangu. 25#Baf 4:18Naye nnalaba nga kigwanye okubatumira Epafuloddito muganda wange, era mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ye mutume wammwe era omuweereza w'ebintu bye nneetaaga; 26kubanga yabalumirwa omwoyo mmwe mwenna, ne yeeraliikirira nnyo, kubanga mwawulira nga yalwala: 27kubanga okulwala yalwala yali kumpi n'okufa: naye Katonda yamusaasira; so si ye yekka, naye era nange, ennaku endala zireme okweyongera ku nnaku ze nnina. 28Kyenva njagala ennyo okumutuma, bwe mulimulaba nate mulyoke musanyuke, nange nkendeeze ku kunakuwala kwange. 29#1 Kol 16:16, 1 Tim 5:17Kale mu mwanirizanga mu Mukama waffe n'essanyu lyonna; era abafaanana ng'oyo mubassengamu ekitiibwa: 30kubanga yabulako katono afe olw'omulimu gwa Kristo, bwe yasingawo obulamu bwe alyoke atuukirize ekyabulako mu kuweereza kwammwe gye ndi.

Currently Selected:

Abafiripi 2: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy