YouVersion Logo
Search Icon

Abafiripi 1

1
1 # 1 Kol 1:2, 1 Tim 3:1,8 Pawulo ne Timoseewo, abaddu ba Kristo Yesu, eri abatukuvu bonna mu Kristo Yesu abali mu firipi, wamu n'abalabirizi n'abaweereza: 2#Bar 1:7ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3 # Bar 1:8, 1 Kol 1:4 Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, 4ennaku zonna buli lwe mbasabira mwenna nsaba n'essanyu, 5olw'okussa ekimu kwammwe okw'okubunya enjiri okuva ku lunaku olw'olubereberye okutuusa kaakano; 6#Baf 2:13, 1 Kol 1:6-8nga ntegeeredde ddala kino ng'oyo eyatandika omulimu omulungi mu mmwe aligutuukiriza okutuusa ku lunaku lwa Yesu Kristo: 7nga bwe kiri ekirungi nze okulowoozanga ekyo gye muli mwenna, kubanga ndi nammwe mu mutima gwange, bwe mussa ekimu mwenna awamu nange mu kisa, mu kusibibwa kwange era ne mu kuwolerezanga enjiri n'okuginywezanga. 8#Bar 1:9, 2 Kol 1:23, 1 Bas 2:5Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, bwe mbalumirwa omwoyo mwenna mu kusaasira kwa Kristo Yesu. 9Era kino kye nsaba okwagala kwammwe kweyongereyongerenga kusukkirirenga mu kutegeera n'okwawula kwonna: 10#Bar 2:18; 12:2, 1 Bas 5:23, Beb 5:14mulyoke musiimenga ebisinga obulungi; mubeerenga abatalina bukuusa era abatalina kabi okutuusa ku lunaku lwa Kristo; 11#Bef 5:9; 1:6,12,14, Yok 15:8nga mujjudde ebibala eby'obutuukirivu, ebiriwo ku bwa Yesu Kristo, Katonda aweebwe ekitiibwa, atenderezebwe.
12 # 2 Tim 2:9 Naye njagala mmwe okutegeera, ab'oluganda, ng'ebyambaako byajja lwa kubunya bubunya enjiri; 13#Baf 4:22, Bef 3:1n'okusibibwa kwange ne kulyoka kulabika mu Kristo eri basserikale bonna aba kabaka, n'abalala bonna; 14n'ab'oluganda abasinga obungi mu Mukama waffe ne balyoka baguma olw'okusibwa kwange ne beeyongeranga nnyo okwaŋŋanga okubuuliranga ekigambo kya Katonda nga tebatya. 15Abalala babuulira Kristo lwa buggya n'okuyomba; era n'abalala bamubuulira lwa kisa: 16bano babuulira lwa kwagala, nga bamanyi nga nnateekebwawo lwa kuwolerezanga enjiri: 17naye bali babuulira Kristo olw'okuyomba, si mu mazima, nga balowooza okundeetera ennaku mu kusibibwa kwange. 18#Baf 2:17,18Naye n'ekyo nsonga? wabula nga mu ngeri zonna, oba mu bukuusa oba mu mazima, Kristo abuulirwa; n'ekyo nkisanyukidde, weewaawo era ndisanyuka. 19#Yob 13:16, 2 Kol 1:11Kubanga mmanyi ng'ekyo kirinviiramu obulokozi olw'okusaba kwammwe n'okuweebwa Omwoyo wa Yesu Kristo, 20#1 Peet 4:16nga bwe ntunuulira ennyo ne nsuubira nga ssirikwatibwa nsonyi mu kigambo kyonna, wabula nga Kristo, ennaku zonna, era ne kaakano anaagulumizibwanga mu mubiri gwange mu buvumu bwonna, oba mu bulamu oba mu kufa. 21#Bag 2:20Kubanga gye ndi okuba omulamu ye Kristo, n'okufa ge magoba. 22#Bar 1:13Naye oba ng'okuba omulamu mu mubiri, okwo nga kye kibala eky'omulimu gwange, kale ssimanyi kye nneeroboza. 23Naye nziyizibwa enjuyi zombiriri, nga nneegomba okugenda okubeera ne Kristo; kubanga kwe kusinga ennyo nnyini: 24naye okubeera mu mubiri kwe kusinga okwetaagibwa ku lwammwe. 25Era, kubanga ntegeeredde ddala bwe ntyo, mmanyi nga ndibeera, era ndibeera wamu nammwe mwenna, olw'okuyitirira kwammwe n'okusanyuka olw'okukkiriza: 26okwenyumiriza kwammwe kulyoke kusukkirire mu Kristo Yesu ku bwange, nze olw'okujja gye muli nate. 27#Bak 1:10, Baf 4:3, 1 Bas 2:12Naye kyokka okutambula kwammwe kubeerenga nga bwe kigwanira enjiri ya Kristo: bwe ndijja okubalabako oba nga ssiriiwo, ndyoke mpulire ebifa gye muli, nga munywedde mu mwoyo gumu, nga mulwaniriranga okukkiriza okw'enjiri n'emmeeme emu; 28so nga temukangibwa balabe mu kigambo kyonna: ke kabonero ddala gye bali ak'okuzikirira, naye eri mmwe ka bulokozi, era obuva eri Katonda; 29kubanga mwaweebwa ku lwa Kristo si kumukkiriza kwokka, era naye n'okubonaabonanga ku lulwe: 30#Bik 16:22nga mulina okulwana kuli kwe mwalaba gye ndi, era kwe muwulira kaakano okuli gye ndi.

Currently Selected:

Abafiripi 1: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy