YouVersion Logo
Search Icon

Abaefeso 6

6
1 # Bak 3:20 Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi. 2Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko (lye tteeka ery'olubereberye eririmu okusuubiza), 3#Ma 5:16olyoke obeerenga bulungi, era owangaalenga ennaku nnyingi ku nsi. 4#Bak 3:21, Is 50:5, Nge 2:2; 3:11; 19:18, Ma 6:7,20-25, Zab 78:4Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe, naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.
5 # Bak 3:22-25, Tit 2:9,10, 1 Peet 2:18 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omubiri nga mulina okutya n'okukankana, omutima gwammwe nga teguliimu bukuusa, nga Kristo; 6si nga mu kuweereza okw'okungulu, ng'abaagala okusiimibwanga abantu; naye ng'abaddu ba Kristo, nga mukolanga n'omwoyo Katonda by'ayagala, 7nga muweerezanga n'okwagala nga Mukama waffe so si bantu: 8#2 Kol 5:10nga mumanyi nti buli muntu ekirungi ky'akola, ky'aliweebwa nate eri Mukama waffe, oba muddu oba wa ddembe. 9#Bak 4:1, 2 Byom 19:7, Bik 10:34Nammwe, bakama baabwe, mubakolenga bwe mutyo, nga mulekanga okutiisa: nga mumanyi nga Mukama waabwe era owammwe ali mu ggulu, so tewali kusosola mu bantu gy'ali.
10 # 1 Kol 16:13, 1 Yok 2:14 Eky'enkomerero, mubenga n'amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw'amaanyi ge. 11#Bef 4:14, 2 Kol 10:4Mwambalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani. 12#Bef 2:2, Yok 14:30, Bak 1:13, 1 Peet 5:8,9Kubanga tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu kizikiza kino, n'emyoyo egy'obubi mu bifo ebya waggulu. 13#1 Bassek 20:11Kale mutwalenga ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe mulimala okukola byonna, musobole okuyimirira. 14#Is 11:5; 59:17, Luk 12:35, 1 Peet 1:13, 1 Bas 5:8Kale muyimirirenga, nga mwesibye mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky'omu kifuba obutuukirivu, 15#Is 52:7; 40:3,9era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw'enjiri ey'emirembe; 16#1 Peet 5:9, 1 Yok 5:4era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey'okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw'omuliro obw'omubi. 17#1 Bas 5:8, Kos 6:5, Is 11:4; 49:2; 51:16Muweebwe ne sseppewo ey'obulokovu, n'ekitala eky'Omwoyo, kye kigambo kya Katonda: 18#Mat 26:41, Bak 4:2,3nga musabanga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n'okwegayiriranga kwonna n'okwegayirirrianga abatukuvu kusaba okwo mu kunyiikiranga kwonna n'okwegayiririranga abatukuvu bonna. 19#Bak 4:3, 2 Bas 3:1, Bik 4:29era nange ndyoke mpeebwe okwogeranga okwasamyanga akamwa kange, okutegeezanga n'obuvumu ekyama eky'enjiri, 20#2 Kol 5:20, Bak 4:4gye mbeerera omubaka waayo mu lujegere; njogerenga n'obuvumu mu yo, nga bwe kiŋŋwanira okwogeranga.
21 # Bik 20:4, Bak 4:7 Naye nammwe mulyoke mutegeere ebifa gye ndi bwe biri, Tukiko, ow'oluganda omwagalwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waffe alibategeeza byonna: 22#Bak 4:7,8gwe mbatumidde olw'ensonga eno, mulyoke mutegeere ebifa gye tuli, era abasanyuse emitima gyammwe.
23Emirembe gibenga eri ab'oluganda, n'okwagala awamu n'okukkiriza ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo. 24#1 Peet 1:8Ekisa kibeerenga n'abo bonna abaagala Mukama waffe Yesu Kristo mu butamala.

Currently Selected:

Abaefeso 6: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy