YouVersion Logo
Search Icon

Abaefeso 5

5
1 # Mat 5:48, Bak 3:12 Kale mugobererenga Katonda, ng'abaana abaagalwa; 2#Bag 2:20, Beb 10:10, Bak 3:13, Zab 40:6, Kuv 29:18, Ez 20:41era mutambulirenga mu kwagala, era nga Kristo bwe yabaagala mmwe, ne yeewaayo ku lwaffe okubeera ekirabo era ssaddaaka eri Katonda okubeera evvumbe eriwunya obulungi. 3#Bef 4:19, Bak 3:5Naye obwenzi n'obugwagwa bwonna n'okwegomba n'okwogerebwa tebyogerebwangako mu mmwe, nga bwe kigwanira abatukuvu; 4#Bef 4:29, Bak 3:8newakubadde eby'ensonyi, newakubadde ebinyumizibwa eby'obusiru, newakubadde okubalaata, ebitasaana: naye waakiri okwebazanga. 5#1 Kol 6:9,10, Bak 3:5, Bik 8:21Kubanga ekyo mukitegeerera ddala nga tewali mwenzi, oba mugwagwa, oba eyeegomba, ye oyo asinza ebifaananyi, alina obusika mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. 6#Bar 1:18, Bak 2:4,8Omuntu yenna tabalimbanga n'ebigambo ebitaliimu: kubanga olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira. 7Kale temussanga kimu nabo; 8#Bef 5:11,13, Luk 16:8, 1 Peet 2:9, Yok 12:36kubanga edda mwali kizikiza, naye kaakano muli musana mu Mukama waffe: mutambulenga ng'abaana b'omusana 9(kubanga ebibala by'omusana biri mu bulungi bwonna n'obutuukirivu n'amazima), 10#Bar 12:2nga mukeberanga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri; 11#Yok 16:8so temussanga kimu n'ebikolwa ebitabala eby'ekizikiza, naye waakiri mubibuulirirenga bubuulirizi; 12#Bar 1:24kubanga kya nsonyi n'okubyogerako ebyo bye bakola mu kyama. 13#Yok 3:20,21Naye ebigambo byonna, bwe bibuulirirwa, omusana gubirabisa: kubanga buli ekirabisibwa gwe musana. 14#Is 26:19; 60:1, Bar 13:11; 6:13Kyava ayogera nti Zuukuka, ggwe eyeebase, ozuukire mu bafu, Kristo anaakwakira.
15 # Mat 10:16, Bak 4:5 Kale mutunule nnyo bwe mutambulanga, si ng'abatalina magezi, naye ng'abalina amagezi; 16nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi. 17#Bar 12:2Kale temubeeranga basirusiru, naye mutegeerenga Mukama waffe ky'ayagala bwe kiri. 18#Nge 23:31, Luk 21:34So temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula, naye mujjulenga Omwoyo; 19#Bak 3:16, Zab 33:2,3nga mwogeragananga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe; 20#Bak 3:17nga mwebazanga ennaku zonna olwa byonna Katonda Kitaffe mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo; 21#1 Peet 5:5nga muwuliragananga mu kutya Kristo.
22 # Lub 3:16, Bak 3:18, 1 Peet 3:1 Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. 23#1 Kol 11:3, Bak 1:18Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekkanisa, bw'ali omulokozi ow'omubiri yennyini. 24Naye ng'ekkanisa bw'ewulira Kristo, n'abakazi bwe batyo bawulirenga babbaabwe mu buli kigambo. 25#Bak 3:19Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo; 26#Tit 3:5alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu kigambo, 27#Zab 45:13, 2 Kol 11:2alyoke agyereetere yennyini ekkanisa ey'ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna ekifaanana nga bino; naye ebeere entukuvu, eteriiko bulema. 28Era bwe kibagwanidde bwe kityo abasajja okwagalanga bakazi baabwe bennyini ng'emibiri gyabwe bennyini. Ayagala mukazi we yennyini, yeeyagala yekka: 29Kubanga tewali muntu eyali akyaye omubiri gwe yennyini, naye aguliisa agujjanjaba, era nga Kristo bw'ajjanjaba ekkanisa; 30#Bef 1:23, 1 Kol 6:15, Lub 2:23kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. 31#Lub 2:24Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu. 32#Kub 19:7Ekyama kino kikulu: naye njogera ku Kristo n'ekkanisa. 33Naye era nammwe buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka; n'omukazi atyenga bba.

Currently Selected:

Abaefeso 5: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in