YouVersion Logo
Search Icon

Abaefeso 4

4
1 # Bak 1:10 Kyenva mbeegayirira nze omusibe mu Mukama waffe okutambulanga nga bwe kusaanira okuyitibwa kwe mwayitibwa, 2#Bak 3:12n'obukkakkamu bwonna n'obuwombeefu, n'okugumiikiriza, nga muzibiikirizagananga mu kwagalana, 3#Bak 3:14,15nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe. 4#Bar 12:5Omubiri guli gumu, n'Omwoyo omu, era nga nammwe bwe mwayitibwa mu kusuubira okumu okw'okuyitibwa kwammwe; 5#Yok 10:16, 1 Kol 8:6Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu, 6#1 Kol 12:6Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, ayita mu byonna, era ali mu byonna. 7#Bar 12:3,6, 1 Kol 12:11Naye buli muntu mu ffe yaweebwa ekisa ng'ekigera ky'ekirabo kya Kristo bwe kiri. 8#Zab 68:18, Bak 2:15Kyava ayogera nti
Bwe yalinnya waggulu, n'anyaga okunyaga,
N'awa abantu ebirabo.
9 # Yok 3:13 (Naye ekigambo ekyo nti Yalinnya, kigamba ki wabula okugamba nti era yakka mu njuyi eza wansi ez'ensi? 10Eyakka era ye wuuyo eyalinnya waggulu ennyo okusinga eggulu lyonna, alyoke atuukirize byonna.) 11#1 Kol 12:28, Bik 21:8Era oyo n'awa abalala okubeera abatume, n'abalala bannabbi, n'abalala ababuulizi, n'abalala abalunda n'abayigiriza; 12#1 Peet 2:5, 2 Tim 3:17olw'okutuukiriza abatukuvu, olw'omulimu ogw'okuweereza, olw'okuzimba omubiri gwa Kristo: 13#Bak 1:28okutuusa lwe tulituuka fenna mu bumu obw'okukkiriza, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'obukulu obw'okutuukirira kwa Kristo: 14#1 Kol 14:20, Beb 13:9tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba; 15#Bef 1:22; 5:23, Bak 1:18naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo; 16#Bak 2:19mu oyo omubiri gwonna bwe gugattibwa obulungi ne gunywezebwa awamu buli nnyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kwagalana.
17 # Bar 1:21, Bak 2:4,6 Kyenva njogera kino ne ntegeeza mu Mukama waffe, mmwe mulemenga okutambula nate, era ng'ab'amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebitaliimu, 18#Bef 2:12, Bak 1:21, 1 Peet 1:14nga bazikizibwa amagezi gaabwe, nga baawulibwa ku bulamu bwa Katonda olw'obutategeera obuli mu bo, olw'okukakanyala okw'omutima gwabwe; 19#Bak 3:5kubanga beerabira okulumwa, ne beewaayo mu bwenzi, okukolanga eby'obugwagwa bwonna mu kwegomba. 20Naye mmwe temwayiga bwe mutyo Kristo; 21oba nga mwamuwulira, ne muyigirizibwa mu ye ng'amazima bwe gali mu Yesu: 22#Bar 8:13, Bak 3:9, Bag 6:8mu bigambo by'empisa ez'olubereberye, mmwe okwambula omuntu ow'edda, avunda olw'okwegomba okw'obulimba; 23#Bar 12:2era okufuuka abaggya mu mwoyo ogw'ebirowoozo byammwe, 24#Lub 1:26okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw'amazima.
25 # Zek 8:16, Bak 3:8 Kale mwambule obulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne: kubanga tuli bitundu bya bannaffe fekka na fekka. 26#Zab 4:4, Yak 1:19,20Musunguwalenga so temwonoonanga: enjuba eremenga okugwa ku busungu bwammwe: 27so temuwanga bbanga Setaani. 28#1 Bas 4:11Eyabbanga alemenga okubba nate: naye waakiri afubenga, ng'akola ebirungi n'emikono gye, alyoke abeerenga n'eky'okumuwa eyeetaaga. 29#Bef 5:4, Bak 3:16,17; 4:6Buli kigambo ekivundu kireme okuvanga mu kamwa kammwe, naye ekirungi bwe kinaabangawo olw'okuzimba nga omuntu bwe yeetaaga, abawulira kibawenga ekisa. 30#Bef 1:13, Is 63:10So temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu owa Katonda, eyabateesaako akabonero okutuusa olunaku olw'okununulibwa. 31#Bak 3:8Okukaawa kwonna n'obusungu n'obukambwe n'okukaayana n'okuvuma bibavengako, awamu n'ettima lyonna: 32#Mat 6:14; 18:22-35, Bak 3:12,13era mubeerenga n'obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.

Currently Selected:

Abaefeso 4: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in