YouVersion Logo
Search Icon

Abafiripi 3

3
1 # Baf 2:18; 4:4 Ebisigaddeyo, baganda bange, musanyukirenga Mukama waffe. Okubawandiikira ebimu tekunkooya nze, naye kuleeta mirembe gye muli. 2#Kub 22:15Mwekuumenga embwa, mwekuumenga abakozi ababi, mwekuumenga abeesala: 3#Bar 2:29kubanga ffe tuli abeekomola, abasinza ku bw'Omwoyo gwa Katonda, abeenyumiririza mu Kristo Yesu, era abateesiga mubiri: 4#2 Kol 11:18,22newakubadde nga nze nnyinza n'okwesiga omubiri: omuntu omulala yenna bw'alowooza okwesiga omubiri, nze mmusinga: 5#Bik 26:5, Luk 1:59; 2:21nze eyakomolerwa ku lunaku olw'omunaana, ow'omu ggwanga lya Isiraeri, ow'omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu; mu mateeka Mufalisaayo; 6mu kunyiikira, nga njigganya ekkanisa; mu butuukirivu obuli mu mateeka, nnalabikanga nga ssiriiko kya kunenyezebwa. 7#Mat 13:44,46Naye byonna ebyali amagoba gye ndi, ebyo nnabirowooza nga kufiirwa olwa Kristo. 8Naye era n'ebintu byonna nnabirowooza nga kufiirwa olw'obulungi obungi obw'okutegeera Kristo Yesu Mukama wange: ku bw'oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera mpitambi, ndyoke nfune amagoba ye Kristo, 9#Bar 3:21,22era ndyoke ndabikire mu ye, nga ssirina butuukirivu bwange obuva mu mateeka, wabula obutuukirivu obuliwo olw'okukkiriza Kristo, obuva eri Katonda mu kukkiriza: 10#Bar 6:3-5; 8:17, Bag 6:17ndyoke mmutegeere ye n'obuyinza obw'okuzuukira kwe n'okussa ekimu okw'ebibonoobono bye, nga mmufaanana ne mu kufa kwe; 11#Bik 4:2, Kub 20:5,6bwe ndiyinza mu byonna byonna okutuuka ku kuzuukira kwe okuva mu bafu. 12#1 Tim 6:12, Bik 9:6Si kugamba nti mmaze okuweebwa oba nti mmaze okutuukirizibwa: naye ngoberera era ndyoke nkikwate ekyo kye yankwatira Kristo Yesu. 13Ab'oluganda, sseerowooza nze nga mmaze okukwata: naye kimu kye nkola, nga nneerabira ebyo ebiri ennyuma, era nga nkununkiriza ebyo ebiri mu maaso, 14#1 Kol 9:24nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey'okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu. 15#1 Kol 2:6Kale ffe fenna abaatuukirira, tulowoozenga ekyo: era bwe mulowooza ebirala mu kigambo kyonna, era Katonda alibabikkulira n'ekyo: 16#Bag 6:16naye kyokka, kye tutuuseeko, tutambulirenga mu ekyo.
17 # 1 Kol 11:1, 1 Bas 1:7, 1 Peet 5:3 Ab'oluganda, mukkiriziganye wamu mungobererenga, era mulabirenga ku abo abatambula nga bwe mulina ffe okuba ekyokulabirako. 18#1 Kol 1:23, Bag 6:12Kubanga bangi abatambula be nnababuulirako emirundi emingi, ne kaakano mbabuulira nga nkaaba amaziga, nga be balabe ab'omusalaba gwa Kristo: 19#Bar 16:18enkomerero yaabwe kwe kuzikirira, katonda waabwe lwe lubuto, era ekitiibwa kyabwe kiri mu nsonyi zaabwe, balowooza bya mu nsi. 20#Bef 2:6, Bak 3:1, Beb 12:22Kubanga ffe ewaffe mu ggulu; era gye tulindiririra Omulokozi okuvaayo, Mukama waffe Yesu Kristo: 21#1 Kol 15:43,49,53aliwaanyisa omubiri ogw'okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng'omubiri ogw'ekitiibwa kye, ng'okukola okwo bwe kuli okumuyinzisa n'okussa ebintu byonna wansi we.

Currently Selected:

Abafiripi 3: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy