Isaaya 65
65
1 #
Zek 14:16, Bar 10:20,21, Bef 2:12,13 Mbuuzibwako abo abatambuuzangako; ndabiddwa abo abatannoonyanga: nagamba nti Ndaba, ndaba, eri eggwanga eritatuumibwanga linnya lyange. 2Ngololedde emikono gyange okuzibya obudde abantu abajeemu abatambulira mu kkubo eritali ddungi, okugoberera ebirowoozo byabwe bo; 3#Is 1:29; 57:3-6; 66:17abantu abansunguwaza mu maaso gange olutata, nga basalira ssaddaaka mu nsuku, era nga bootereza obubaane ku matoffaali; 4abatuula mu malaalo, abasula mu bifo eby'ekyama; abalya ennyama y'embizzi n'amazzi ag'emizizo gali mu bibya byabwe; 5#Is 9:18aboogera nti Yimirira wekka, tonsemberera nze kubanga nze nkusinga obutukuvu: abo gwe mukka mu nnyindo yange, omuliro ogwaka okuzibya obudde. 6#Zab 50:3; 79:12, Yer 17:1Laba, kiwandiikiddwa mu maaso gange: sirisirika, naye ndisasula, weewaawo, ndisasula mu kifuba kyabwe 7#Kuv 20:5, Ez 20:27,28obutali butuukirivu bwammwe mmwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjammwe wamu, bw'ayogera Mukama, abaayoterezanga obubaane ku nsozi ne banzivoolera ku busozi: kyendiva nsooka okugera omulimu gwabwe mu kifuba kyabwe.
8 #
Is 17:6
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ng'omwenge omusu bwe gulabikira mu kirimba, ne wabaawo ayogera nti Tokizikiriza kubanga mulimu omukisa: bwe ntyo bwe ndikola ku lw'abaddu bange nneme okubazikiriza bonna. 9#Is 27:6Era ndiggya ezzadde mu Yakobo ne mu Yuda ndiggyamu alisikira ensozi zange: n'abalonde bange baligisikira n'abaddu bange balituula omwo. 10#Yos 7:26; 24:20, Is 33:9; 35:2; 51:1, Kos 2:15Awo Saloni kiriba kisibo kya ndiga, n'ekiwonvu kya Akoli kiriba kifo ente we zigalamira, olw'abantu bange abannoonyezza. 11#Yos 24:20, Ez 23:41, 1 Kol 10:21Naye mmwe abaleka Mukama, abeerabira olusozi lwange olutukuvu, abategekera Mukisa emmeeza, abajjuliza Kuteekawo omwenge omutabule; 12#Is 66:4, Yer 7:13nze ndibateekerawo ekitala, nammwe mwenna mulikutama okuttibwa: kubanga bwe nnayita temwayitaba; bwe nnayogera temwawulira; naye ne mukola ekyali ekibi mu maaso gange ne mulonda ekyo kye ssaasanyukira.
13 #
Zab 22:26
Kyava ayogera bw'ati Mukama Katonda nti Laba, abaddu bange balirya, naye mmwe mulirumwa njala: laba, abaddu bange balinywa, naye mmwe mulirumwa nnyonta: laba, abaddu bange balisanyuka, naye mmwe muliswala: 14#Zab 5:11laba, abaddu bange baliyimba omutima gwabwe nga gusanyuse, naye mmwe mulikaaba omutima gwammwe nga gunakuwadde ne muwowoggana omwoyo gwammwe nga gulumiddwa. 15#Zek 8:13Era mulirekera abalonde bange erinnya lyammwe okuba ekikolimo, era Mukama Katonda alikutta; n'atuuma abaddu be erinnya eddala: 16#Ma 32:4, Is 43:18, Yer 4:2eyeesabira omukisa mu nsi kyanaavanga yeesabira omukisa eri Katonda ow'amazima; n'oyo alayira mu nsi anaalayiranga Katonda ow'amazima; kubanga obuyinike obwasooka bwerabiddwa, era kubanga bukwekeddwa amaaso gange. 17#2 Peet 3:13, Kub 21:1Kubanga, laba, ntonda eggulu eriggya n'ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo. 18#Is 51:3, Yer 31:7Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda: kubanga, laba, ntonda Yerusaalemi okuba okusanyuka, n'abantu baamu okuba essanyu. 19#Is 35:10; 62:5Era ndisanyukira Yerusaalemi ne njaguliza abantu bange: so n'eddoboozi ery'okukaaba nga terikyawulirwa omwo nate newakubadde eddoboozi ery'okulira. 20#Mub 8:12,13Temukyavangamu mwana wa nnaku bunaku, newakubadde omukadde atannatuusa nnaku ze: kubanga omwana alifa nga yaakamaze emyaka kikumi, n'alina ebibi nga yaakamaze emyaka kikumi alikolimirwa. 21#Ez 28:26Era balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu ne balya ebibala byamu. 22#Zab 92:12-14Tebalizimba omulala n'asulamu; tebalisimba omulala n'alya: kubanga ng'ennaku ez'omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez'abantu bange, n'abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw'engalo zaabwe. 23#Ma 28:41, Zab 115:12-15, Is 49:4Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly'abo abaweebwa Mukama omukisa, n'enda yaabwe wamu nabo. 24#Dan 9:21Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira. 25#Lub 3:14, Is 11:6,7,9Omusege n'omwana gw'endiga binaaliiranga wamu, n'empologoma eneeryanga omuddo ng'ente: n'enfuufu ye eneebanga emmere ey'omusota. Tebiriruma so tebirizikiririza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw'ayogera Mukama.
Currently Selected:
Isaaya 65: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.