YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 66

66
1 # 1 Bassek 8:27, Mat 5:34,35, Bik 7:49-50; 17:24 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eggulu ye ntebe yange, n'ensi ye ntebe y'ebigere byange: nnyumba ki gye mulinzimbira? era kifo ki ekiriba ekiwummulo kyange? 2#1 Byom 29:14, Zab 34:18, Is 57:15Kubanga bino byonna omukono gwange gwe gwabikola, era ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, bw'ayogera Mukama: naye omwavu era alina omwoyo oguboneredde era akankanira ekigambo kyange ye wuuyo gwe nditunuulira. 3#Yer 7:24Asala ente aliŋŋanga atta omuntu; awaayo omwana gw'endiga aliŋŋanga amenyako embwa obugalo; aleeta ekiweebwayo aliŋŋanga aleeta omusaayi gw'embizzi; ayoteza omugavu ng'oyo asabira ekifaananyi omukisa: weewaawo, balonze amakubo gaabwe bo, n'emmeeme yaabwe esanyukira emizizo gyabwe; 4#Is 65:12era nange ndironda ebibalimbalimba, ne mbaleetako ebyo bye batya; kubanga bwe nnayita ne wataba muntu eyayitaba; bwe nnayogera tebaawulira: naye ne bakola ekyali ekibi mu maaso gange, ne balonda ekyo kye ssaasanyukira. 5Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abakankanira ekigambo kye: nti Baganda bammwe abaabakyawa, abaabagoba okubalanga erinnya lyange, boogedde nti Mukama aweebwe ekitiibwa tulyoke tulabe essanyu lyammwe; naye balikwatibwa ensonyi. 6#Is 59:18Eddoboozi ery'okuyoogaana eriva mu kibuga, eddoboozi eriva mu yeekaalu, eddoboozi lya Mukama asasula abalabe be empeera. 7Yali nga tannalumwa n'azaala; obubalagaze bwe bwali nga tebunnatuuka n'azaala omwana wa bulenzi. 8Ani eyali awulidde ekigambo ekifaanana bwe kityo? ani eyali alabye ebigambo ebifaanana bwe bityo? Ensi erizaalwa ku lunaku lumu? eggwanga liriva mu lubuto mulundi gumu? kubanga Sayuuni yali nga kyajje alumwe n'azaala abaana be. 9Ndituusa okuzaalwa ne ssizaaza? bw'ayogera Mukama: nze azaaza ndiggala olubuto? bw'ayogera Katonda wo.
10 # Is 65:19 Musanyukire wamu ne Yerusaalemi, mujaguze ku lulwe, mmwe mwenna abamwagala: musanyukire wamu naye olw'essanyu, mmwe mwenna abamukaabirira: 11mulyoke muyonke mukkute amabeere ge agasanyusa; mulamule mumalemu musanyukire ekitiibwa kye ekisukkirivu. 12#Is 48:18Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndibunya emirembe gy'ali ng'omugga, n'ekitiibwa ky'amawanga ng'omugga ogwanjaala, nammwe muliyonkako; muliweekerwa ku mbiriizi, era mulibuusibwabuusibwa ku maviivi. 13#Is 51:12Ng'omuntu nnyina gw'asanyusa, bwe ntyo bwe ndisanyusa mmwe; ne musanyusibwa mu Yerusaalemi. 14#Ezer 8:22,31, Is 58:11Era mulikiraba n'omutima gwammwe gulijaguza n'amagumba gammwe galyera ng'omuddo omugonvu: n'omukono gwa Mukama gulimanyibwa eri abaddu be, era alisunguwalira abalabe be. 15#Zab 68:17; 97:3, 2 Bas 1:7-8Kubanga, laba, Mukama alijja n'omuliro, n'amagaali ge galiba ng'empewo ey'akazimu; okusasula obusungu bwe n'ekiruyi, n'okunenya kwe n'ennimi ez'omuliro. 16#Yo 3:2Kubanga Mukama aliwoza na muliro era na kitala kye eri bonna abalina omubiri: era Mukama b'alitta baliba bangi. 17Abo abeetukuza ne beerongoosa okugenda mu nsuku, ennyuma w'omu ali wakati, nga balya ennyama y'embizzi n'eky'omuzizo ekyo n'omusonso; baliggweerawo wamu, bw'ayogera Mukama. 18#Zek 14:16Kubanga nze mmanyi emirimu gyabwe n'ebirowoozo byabwe: ebiro bijja lwe ndikuŋŋaanya amawanga gonna n'ennimi; kale balijja ne balaba ekitiibwa kyange. 19#Bar 15:20,21Era nditeeka akabonero mu bo, n'abo abawona ku bo ndibatuma mu mawanga, eri Talusiisi, Puuli ne Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani, mu bizinga ebiri ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, so tebalabanga kitiibwa kyange; kale balibuulira amawanga ekitiibwa kyange. 20#Is 14:2, Bar 15:16Awo balireeta baganda bammwe bonna nga babaggya mu mawanga gonna okuba ekiweebwayo eri Mukama, ku mbalaasi ne mu magaali ne ku nnyinyo ne ku nnyumbu ne ku nsolo ez'embiro, awali olusozi lwange olutukuvu Yerusaalemi, bw'ayogera Mukama, ng'abaana ba Isiraeri bwe baleeta ekyo kye bawaayo mu kintu ekirongoofu mu nnyumba ya Mukama. 21#Kuv 19:6Era nditwala ne ku bo okuba bakabona n'Abaleevi, bw'ayogera Mukama. 22#Zab 89:29, Is 65:17Kubanga eggulu eriggya n'ensi empya bye ndikola bwe birisigala mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, bwe bityo bwe birisigala ezzadde lyammwe n'erinnya lyammwe. 23#Zab 86:9, Zek 14:16Awo olulituuka, okuva ku mwezi okutuusa ku mwezi, n'okuva ku ssabbiiti okutuusa ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange, bw'ayogera Mukama. 24#Mak 9:48Kale balifuluma ne batunuulira emirambo gy'abasajja abansobezzaako: kubanga envunyu yaabwe terifa, so n'omuliro gwabwe tegulizikizibwa: era baliba kyenyinyalwa eri bonna abalina omubiri.

Currently Selected:

Isaaya 66: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in