1
Isaaya 65:24
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira.
Compare
Explore Isaaya 65:24
2
Isaaya 65:17
Kubanga, laba, ntonda eggulu eriggya n'ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo.
Explore Isaaya 65:17
3
Isaaya 65:23
Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly'abo abaweebwa Mukama omukisa, n'enda yaabwe wamu nabo.
Explore Isaaya 65:23
4
Isaaya 65:22
Tebalizimba omulala n'asulamu; tebalisimba omulala n'alya: kubanga ng'ennaku ez'omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez'abantu bange, n'abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw'engalo zaabwe.
Explore Isaaya 65:22
5
Isaaya 65:20
Temukyavangamu mwana wa nnaku bunaku, newakubadde omukadde atannatuusa nnaku ze: kubanga omwana alifa nga yaakamaze emyaka kikumi, n'alina ebibi nga yaakamaze emyaka kikumi alikolimirwa.
Explore Isaaya 65:20
6
Isaaya 65:25
Omusege n'omwana gw'endiga binaaliiranga wamu, n'empologoma eneeryanga omuddo ng'ente: n'enfuufu ye eneebanga emmere ey'omusota. Tebiriruma so tebirizikiririza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw'ayogera Mukama.
Explore Isaaya 65:25
7
Isaaya 65:19
Era ndisanyukira Yerusaalemi ne njaguliza abantu bange: so n'eddoboozi ery'okukaaba nga terikyawulirwa omwo nate newakubadde eddoboozi ery'okulira.
Explore Isaaya 65:19
Home
Bible
Plans
Videos