Isaaya 64
64
1 #
Zab 144:5, Mi 1:4 Singa oyuzizza eggulu, singa osse ensozi ne zikulukuta olw'okujja kwo; 2#Yos 2:9,10ng'omuliro bwe gukwata ebisaka, ng'omuliro bwe gweseza amazzi: okutegeeza abalabe bo erinnya lyo, amawanga gakankanire okujja kwo! 3Bwe wakola eby'entiisa bye tutasuubiranga, wakka, ensozi ne zikulukuta olw'okujja kwo. 4#Zab 31:19, 1 Kol 2:9Kubanga obw'edda abantu tebaawuliranga so n'okutu tekubategeezanga so n'eriiso terirabanga Katonda wabula ggwe akolera omulimu oyo amulindirira. 5Osisinkana n'oyo asanyuka n'akola eby'obutuukirivu, abo abakujjukira mu makubo go: laba, wasunguwala naffe ne twonoona: obw'edda twabeeranga mu ebyo, n'okulokoka tulirokoka? 6#Zab 90:5,6Kubanga fenna tufuuse ng'atali mulongoofu, n'ebikolwa byaffe byonna eby'obutuukirivu biriŋŋanga ekyambalo ekikongedde: era fenna tuwotoka ng'olulagala; n'obutali butuukirivu bwaffe bututwalira ddala ng'empewo. 7#Kos 7:7So tewali asaba linnya lyo, eyeekakaabiriza okukukwatako: kubanga otukisizza amaaso go n'otumalawo olw'obutali butuukirivu bwaffe. 8#Is 45:11; 63:16, Bar 9:20,21Naye kaakano, ai Mukama, ggwe kitaffe; ffe tuli bbumba, naawe mubumbi waffe; naffe fenna tuli mulimu gwa mukono gwo. 9#Zab 74:1,2; 79:8, Is 57:16Tosunguwala nnyo nnyini, ai Mukama, so tojjukira butali butuukirivu ennaku zonna: laba, tunula, tukwegayiridde, ffe fenna tuli bantu bo. 10#Nek 1:3; 2:3Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu, Sayuuni kifuuse ddungu, Yerusaalemi matongo. 11#2 Bassek 25:9, Kag 1:9; 2:3Ennyumba yaffe entukuvu ennungi, bajjajjaffe mwe baakutendererezanga, eyokeddwa omuliro; n'ebintu byaffe byonna eby'okwesiima bifaafaaganye. 12#Zek 1:12Olizibiikiriza ebyo nga bimaze okubaawo, ai Mukama? olisirika n'otubonyaabonya nnyo nnyini?
Currently Selected:
Isaaya 64: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.