YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 63

63
1 # Zab 68:7, Is 34:6 Ani ono ava mu Edomu, ng'alina ebyambalo ebinnyike mu ddagala ng'ava e Bozula? ono alina engoye ez'ekitiibwa, ng'atambuza amaanyi ge amangi? Nze ayogera obutuukirivu, ow'amaanyi okulokola. 2#Kub 14:20; 19:13, Yo 3:13Obeeredde ki omumyufu mu byambalo byo, engoye zo ne zifaanana oyo asambira mu ssogolero? 3Nsambye essogolero omu nzekka; so ku mawanga tekwali n'omu eyali awamu nange: weewaawo, nabasamba mu busungu bwange ne mbalinnyirira mu kiruyi kyange; n'omusaayi ogw'obulamu bwabwe gumansukidde ku byambalo byange era engoye zange zonna zijjudde amabala. 4#Is 34:8Kubanga olunaku olw'okuwalanirwako eggwanga lwali mu mutima gwange, n'omwaka ogw'abanunule bange gutuuse. 5#Is 59:16Ne mmagamaga ne wataba muyambi; ne nneewuunya obutabaawo wa kuwanirira: omukono gwange nze kyegwava gundeetera obulokozi; n'ekiruyi kyange kye kyampanirira. 6#Is 49:26Ne nninnyirira amawanga wansi mu busungu bwange, ne mbatamiiza ku kiruyi kyange, ne nfuka ku ttaka omusaayi ogw'obulamu bwabwe.
7 # Zab 145:7 Naayogera ku bikolwa bya Mukama eby'ekisa ekingi n'amatendo ga Mukama, nga byonna bwe biri by'atuwadde Mukama; n'obulungi obungi obuli eri ennyumba ya Isiraeri, bw'abawadde ng'okusaasira kwe bwe kuli era ng'olufulube bwe ruli olw'ebikolwa bye eby'ekisa ekingi. 8Kubanga yayogera nti Mazima be bantu bange, abaana abatalikuusakuusa: kale n'aba mulokozi waabwe. 9#Ma 7:7,8; 32:10-12, Balam 10:16Yabonyaabonyezebwa mu kubonyaabonyezebwa kwabwe kwonna, ne malayika ali mu maaso ge yabalokolanga: mu kwagala kwe ne mu kusaasira kwe yabanunula; n'abasitulanga n'abeetikkiranga ennaku zonna ez'edda. 10#Zab 78:17,40,56, Ez 20:8, Bik 7:51, Bef 4:30Naye ne bajeema ne banakuwaza omwoyo gwe omutukuvu: kyeyava akyuka okuba omulabe waabwe, n'alwana nabo ye yennyini. 11#Kuv 14:19-22, Zab 77:11-20Awo n'alyoka ajjukira ennaku ez'edda, Musa n'abantu be, ng'ayogera nti Ali ludda wa oyo eyabalinnyisa ng'abaggya mu nnyanja wamu n'abasumba b'endiga ze? ali ludda wa oyo eyateeka omwoyo gwe omutukuvu wakati mu bo? 12#Nek 9:10eyatambuzanga omukono gwe ogw'ekitiibwa awali omukono ogwa ddyo ogwa Musa? eyayawulamu amazzi mu maaso gaabwe okwekolera erinnya eritaliggwaawo? 13eyabayisa mu buziba, ng'embalaasi mu ddungu, obuteesittala? 14#Kubal 10:33Ng'ente bwe ziba ezikka mu kiwonvu, omwoyo gwa Mukama gwabawummuzanga bwe gutyo: bwe watwala bw'otyo abantu bo okwekolera erinnya ery'ekitiibwa. 15#Ma 26:15, Is 59:17Tunula ng'oyima mu ggulu, olabe ng'oyima mu nnyumba ey'obutukuvu bwo n'ekitiibwa kyo: buli ludda wa obunyiikivu bwo n'ebikolwa byo eby'amaanyi? okwagala kw'emmeeme yo n'okusaasira kwo kuziyizibwa gye ndi. 16#Ma 32:6Kubanga ggwe Kitaffe, newakubadde nga Ibulayimu tatumanyi so ne Isiraeri nga tatukkiriza: ggwe, ai Mukama, ggwe Kitaffe; omununuzi waffe okuva emirembe n'emirembe lye linnya lyo. 17#Zab 145:7Ai Mukama, lwaki ggwe okutukyamya mu makubo go n'okakanyaza omutima gwaffe obutakutya? Komawo ku lw'abaddu bo, ebika eby'obusika bwo. 18Abantu bo abatukuvu baabulina kaseera buseera kaseera buseera: abalabe baffe balinnyiridde awatukuvu wo. 19Tufuuse ng'abo b'otofuganga; ng'abo abatatuumibwanga linnya lyo.

Currently Selected:

Isaaya 63: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in