YouVersion Logo
Search Icon

Isaaya 62

62
1 # Nge 4:18 Ku lwa Sayuuni kyendiva nnema okusirika ne ku lwa Yerusaalemi kyendiva nnema okuwummula, okutuusa obutuukirivu bwe lwe bulifuluma ng'okumasamasa, n'obulokozi bwe ng'ettabaaza eyaka. 2#Zab 98:2, Kub 2:17; 3:12Kale amawanga galiraba obutuukirivu bwo, ne bakabaka bonna ekitiibwa kyo: awo olituumibwa erinnya eriggya akamwa ka Mukama lye kalituuma. 3#Zek 9:16Era oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama, n'enkuufiira ey'obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo. 4#Is 54:6-7, Mal 3:12, 1 Peet 2:10Toliyitibwa nate lwa kubiri nti Alekeddwa; so n'ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika: naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira, n'ensi yo eriyitibwa nti Eyafumbirwa: kubanga Mukama akusanyukira, n'ensi yo erifumbirwa. 5#Is 65:19Kuba omulenzi nga bw'awasa omuwala, bwe batyo batabani bo bwe balikuwasa: era ng'awasa omugole bw'asanyukira omugole, bw'atyo Katonda wo bw'alikusanyukira.
6 # Is 52:8 Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi; tebalisirika n'akatono emisana n'ekiro: mmwe abajjukiza ba Mukama, temuwummulanga, 7#Is 60:18, Zef 3:20so temumuganyanga kuwummula, okutuusa lw'alinyweza n'afuula Yerusaalemi okuba ettendo mu nsi. 8#Is 65:21,22, Yer 5:17Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo n'omukono ogw'amaanyi ge nti Mazima siriwaayo nate eŋŋaano yo okuba emmere y'abalabe bo; so ne bannaggwanga tebalinywa mwenge gwo gwe wakolera emirimu: 9#Ma 14:23,26naye abaagikungula be baligirya ne batendereza Mukama; n'abo abaagunoga be baligunywera mu mpya ez'omu watukuvu wange.
10 # Is 11:10; 40:3; 57:14 Muyite, muyite mu nzigi; mulongoose ekkubo ery'abantu; mugulumize mugulumize enguudo; mulondemu amayinja; muyimusize amawanga ebendera. 11#Is 40:10, Zek 9:9, Mat 21:5Laba, Mukama alangiridde enkomerero y'ensi nti Mugambe omuwala wa Sayuuni nti Laba, obulokozi bwo bujja; laba empeera ye eri naye n'okusasula kwe kuli mu maaso ge. 12#61:6Era balibayita nti Bantu batukuvu, Banunule ba Mukama: naawe oliyitibwa nti Eyanoonyezebwa, Kibuga ekitalekebwa.

Currently Selected:

Isaaya 62: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in