Isaaya 61
61
1 #
Is 11:2; 42:1 #
Leev 25:10, Luk 4:18,19 Omwoyo gwa Mukama Katonda guli ku nze; kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abawombeefu ebigambo ebirungi; antumye okusiba abalina emitima egimenyese, okulangirira eddembe eri abawambe, n'abasibe okuggulirwawo ekkomera; 2#Is 34:8, Mat 5:4Okulanga omwaka gwa Mukama ogw'okukkiririzibwamu, n'olunaku lwa Katonda waffe olw'okuwalanirwamu eggwanga; okusanyusa bonna abanakuwadde; 3#Zab 45:7, Is 60:21, Yok 15:8okubateekerawo abanakuwalidde mu Sayuuni, okubawa engule mu kifo ky'evvu, amafuta ag'okusanyuka mu kifo ky'okunakuwala, ekyambalo eky'okutendereza mu kifo ky'omwoyo ogw'okukungubaga; balyoke bayitibwe miti gya butuukirivu, Mukama gye yasimba, alyoke aweebwe ekitiibwa ye. 4#Is 58:12, Am 9:14Kale balizimba ebyazika eby'edda, baliyimusa amatongo agaasooka okubaawo, era baliddaabiriza ebibuga ebyazika, amatongo ag'emirembe emingi. 5#Is 14:2; 60:10Era bannaggwanga baliyimirira ne baliisa endiga zammwe, n'abagenyi be banaabalimiranga be banaabalongooserezanga emizabbibu. 6#Kuv 19:6, Is 60:5,11,16, 1 Peet 2:9, Kub 1:6Naye mmwe muliyitibwa bakabona ba Mukama: abantu balibayita baweereza ba Katonda waffe: mulirya obugagga obw'amawanga, ne mu kitiibwa kyabwe mwe mulyenyumiririza. 7#Zek 9:12Mu kifo ky'ensonyi zammwe muliweebwa emirundi ebiri; ne mu kifo ky'okuswala balisanyukira omugabo gwabwe: kyebaliva babeera n'emirundi ebiri mu nsi yaabwe: baliba n'essanyu eritaliggwaawo. 8#Is 55:3Kubanga nze Mukama njagala omusango ogw'ensonga, nkyawa okunyaga wamu n'obutali butuukirivu; era ndibawa empeera yaabwe ng'amazima bwe gali, era ndiragaana nabo endagaano etaliggwaawo. 9N'ezzadde lyabwe lirimanyibwa mu mawanga, n'enda yaabwe mu bantu: bonna abaabalabanga balibakkiriza ng'abo ly'ezzadde Mukama ly'awadde omukisa.
10 #
Is 59:17, Kaab 3:18, Zek 3:4, Luk 1:46, Kub 19:8; 21:2 Naasanyukiranga nnyo Mukama, emmeeme yange eneesanyukiranga Katonda wange; kubanga annyambazizza ebyambalo eby'obulokozi, ambisseeko omunagiro ogw'obutuukirivu, ng'awasa omugole bwe yeeyonja n'engule, era ng'omugole bwe yeewoomya n'ebyobuyonjo bwe. 11Kuba ng'ettaka bwe lisansuza ekimuli kyalyo, era ng'olusuku bwe lumeza ebyo ebisigibwa mu lwo; bw'atyo Mukama Katonda bw'alimeza obutuukirivu n'okutendereza mu maaso g'amawanga gonna.
Currently Selected:
Isaaya 61: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.