YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 39

39
1 # Kuv 38:2-5; 31:10; 35:19,23,25 Ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne babikoza ebyambalo ebyalangibwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ne bakolera Alooni ebyambalo ebitukuvu; Mukama nga bwe yalagira Musa.
2 # Kuv 28:6-12 N'akola ekkanzu eya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, erangiddwa. 3Ne baweesa zaabu, ne bagifuula ebipaapi, ne bagikomolamu obunyere, okugitunga mu kaniki, ne mu lugoye olw'effulungu, ne mu lumyufu, ne mu bafuta ennungi, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi. 4Ne bagikolako eby'okubibegabega ebyagattibwa: yagattibwa ku nsonda zaayo zombi. 5N'olukoba olw'alangibwa n'amagezi, olwagiriko, okugisibyanga, lwali lwa lugoye lumu nayo era omulimu gwalwo gwafaanana nga yo; lwa zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
6Ne balongoosa amayinja aga onuku, ne gayingizibwa mu mapeesa aga zaabu, ne gasalibwako ng'akabonero bwe kasalibwa, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri bwe gaali. 7N'agateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukizanga eri abaana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa.
8 # Kuv 28:15-28 N'akola ekyomukifuba, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi okufaanana ng'omulimu ogw'ekkanzu; kya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa. 9Kyenkanankana enjuyi zonna; ekyomukifuba baakifunyamu: obuwanvu bwakyo luta, n'obugazi bwakyo luta, nga kifunyiddwamu. 10Ne bakiteekamu ennyiriri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadio, ne topazi, ne kabunkulo lwe lwali olunnyiriri olw'olubereberye. 11N'olunnyiriri olw'okubiri ejjinja erya nnawandagala, safiro, ne alimasi. 12N'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, sebu, ne amesusito. 13N'olunnyiriri olw'okuna berulo, onuku, ne yasipero: geetooloozebwa zaabu we gatonebwa. 14Amayinja ne gaba ng'amannya g'abaana ba Isiraeri, ekkumi n'abiri, ng'amannya gaabwe; ng'akabonero bwe kasalibwa, buli muntu ng'erinnya lye, ebika ekkumi n'ebibiri. 15Ne bakola ku kyomukifuba emikuufu ng'emigwa, obw'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi. 16Ne bakola amapeesa abiri aga zaabu, n'empeta bbiri eza zaabu; ne bateeka empeta ebbiri ku nsonda zombi ez'ekyomukifuba. 17Ne bateeka emikuufu gyombi ogwa zaabu obulangibwa ku mpeta zombi ku nkomerero ez'ekyomukifuba. 18N'enkomerero zombi endala ez'emikuufu gyombi egirangibwa ne baziteeka ku mapeesa gombi, ne bagateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso. 19Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku nsonda zombi ez'ekyomukifuba, ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu munda. 20Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku by'okubibegabega byombi eby'ekkanzu wansi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulukibwa n'amagezi. 21Ne basiba eky'omukifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era ekyomukifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
22 # Kuv 28:31-34 N'akola omunagiro ogw'omu kkanzu gwa mulimu ogulangibwa, gwa kaniki gwonna; 23n'ekituli eky'omunagiro wakati mu gwo, ng'ekituli eky'ekizibawo eky'ekyuma, nga guliko olukugiro okwetooloola ekituli kyagwo, guleme okuyuzibwa. 24Ne bakola ku birenge by'omunagiro amakomamawanga aga kaniki n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, n'aga bafuta erangiddwa. 25Ne bakola endege eza zaabu ennungi, ne bateeka endege wakati w'amakomamawanga ku birenge by'omunagiro okwetooloola, wakati w'amakomamawanga; 26endege n'ekkomamawanga, endege n'ekkomamawanga, ku birenge by'omunagiro okwetooloola, okuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
27 # Kuv 28:39,40,42 Ne bakolera Alooni ebizibawo ebya bafuta ennungi eby'omulimu ogulangibwa, n'abaana be, 28n'ekiremba ekya bafuta ennungi, n'enkuufiira ennungi eza bafuta ennungi, ne seruwale eza bafuta ennungi erangiddwa, 29n'olukoba olwa bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, omulimu ogw'omudaliza; nga Mukama bwe yalagira Musa.
30 # Kuv 28:36,37 Ne bakola akapande ak'okungule entukuvu aka zaabu ennungi, ne bakawandiikako ebigambo, ng'ebiwandiikibwa ku kabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA. 31Ne bakasibako akagoye aka kaniki, okukasiba ku kiremba waggulu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
32 # Kuv 25:40 Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu ne guggwa: era abaana ba Isiraeri baakola nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe baakola bwe batyo.
33Ne bagireetera Musa ennyumba, Eweema, n'ebintu byayo byonna, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo; 34n'eky'okubikkako eky'amaliba g'endiga eza seddume amannyike amamyufu, n'eky'okubikkako eky'amaliba g'eŋŋonge, n'eggigi eryawulamu; 35essanduuko ey'obujulirwa, n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'okusaasira; 36emmeeza, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga; 37ekikondo ekirongoofu, eby'ettabaaza byakyo, bye by'ettabaaza eby'okulongoosebwanga, n'ebintu byakyo byonna, n'amafuta ag'ettabaaza; 38n'ekyoto ekya zaabu, n'amafuta ag'okufukangako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'eweema; 39ekyoto eky'ekikomo, n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; 40eby'okutimba eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byalwo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya, emigwa gyalwo, n'enninga zaalwo, n'ebintu byonna eby'okuweereza okw'omu nnyumba, eby'eweema ey'okusisinkanirangamu; 41ebyambalo ebyakolebwa obulungi eby'okuweererezangamu mu watukuvu, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweererezangamu mu bwakabona. 42#39:42Nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baakola omulimu gwonna. 43Musa n'alaba omulimu gwonna, era laba, baali nga bagumaze; nga Mukama bwe yalagira, bwe batyo bwe baali bagukoledde ddala: Musa n'abasabira omukisa.

Currently Selected:

Okuva 39: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in