YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 38

38
1 # Kuv 27:1-8 N'akola ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo eky'omuti gwa sita: obuwanvu bwakyo bwali emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo emikono esatu. 2N'akola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya; amayembe gaakyo gaali ga mulimu gumu nakyo: n'akibikkako ekikomo. 3#1 Bassek 7:45N'akola ebintu byonna eby'ekyoto, entamu, n'ebijiiko, n'ebibya, n'eby'okukwasa ennyama, n'emmumbiro: ebintu byakyo byonna yabikola n'ebikomo. 4N'akikolera ekyoto ekitindiro eky'ekikomo ekirukibwa, wansi w'omuziziko ogukyetooloola wansi, n'akituusa wakati mu bugulumivu obw'ekyoto. 5N'afumbira empeta nnya ensonda ennya ez'ekitindiro eky'ekikomo, okuba ebifo eby'emisituliro. 6N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako ebikomo. 7N'ayingiza emisituliro mu mpeta ez'oku mbiriizi ez'ekyoto, okukisitulirangako; yakikola n'embaawo nga kirina ebbanga munda.
8 # Kuv 30:18, 1 Sam 2:22 N'akola eky'okunaabirangamu eky'ekikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, n'endabirwamu ez'abakazi abaweereza abaaweerezanga ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
9 # Kuv 27:9-19 N'akola oluggya: ebyatimbibwa eby'oluggya eby'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo obukiika obwa ddyo byali bya bafuta ennungi erangiddwa, emikono kikumi: 10empagi zaabyo zaali amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo byali bya ffeeza. 11N'eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono emikono kikumi, empagi zaabyo amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 12N'ebyatimbibwa eby'oluuyi olw'ebugwanjuba bya mikono ataano, empagi zaabyo kkumi, n'ebinnya byazo kkumi; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 13N'eby'oluuyi olw'ebuvanjuba ku buvanjuba emikono ataano. 14Ebyatimbibwa eby'oku luuyi olumu oluliko omulyango byali bya mikono kkumi n'etaano; empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu; 15n'oluuyi olulala bwe lutyo; eruuyi n'eruuyi ku mulyango ogw'oluggya waaliwo ebyatimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano; empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo ssatu. 16Ebyatimbibwa byonna eby'oluggya eby'enjuyi zonna byali bya bafuta ennungi erangiddwa. 17N'ebinnya eby'empagi byali bya bikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza; n'emitwe gyazo gyabikkibwako ffeeza; n'empagi zonna ez'oluggya zaateekebwako emiziziko gya ffeeza. 18N'akatimba ak'oluggi olw'oluggya kaali mulimu gwa mudaliza, ka kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa: n'obuwanvu bwako bwali emikono abiri, n'obugulumivu mu bugazi bwako bwali emikono etaano, okwenkanankana n'ebyatimbibwa eby'oluggya. 19N'empagi zaabyo zaali nnya, n'ebinnya byazo bina, eby'ebikomo; ebikwaso byazo bya ffeeza, n'eby'okubikka ku mitwe gyazo n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 20N'enninga zonna ez'eweema, n'ez'oluggya okwetooloola, byali bya bikomo.
21 # Kubal 4:28,33 Guno gwe muwendo ogwebintu eby'eweema, ye weema ey'obujulirwa, nga bwe byabalibwa nga Musa bwe yalagira, olw'okuweereza kw'Abaleevi, mu mukono gwa Isamaali, omwana wa Alooni kabona. 22#Kuv 31:2Ne Bezaaleeri, omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda ye yakola byonna Mukama bye yalagira Musa. 23#Kuv 31:6Era wamu naye waaliwo Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani, omusazi w'amayinja, era omukozi ow'amagezi, era omudaliza wa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi.
24 # Kuv 30:13 Zaabu yonna gye baakoza omulimu mu mulimu gwonna ogw'awatukuvu, ye zaabu ey'ekiweebwayo, yali ttalanta abiri mu mwenda, ne sekeri lusanvu mu amakumi asatu, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri. 25Ne ffeeza ez'abo abaabalibwa ab'ekibiina yali ttalanta kikumi, ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri: 26#Kubal 1:46buli muntu beka emu, kye kitundu kya sekeri, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri, buli muntu eyayita okugenda mu abo abaabaliddwa, abaakamala emyaka abiri oba kusukkawo, abantu obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano. 27#Kuv 26:19-32; 36:24-30Ne ttalanta kikumi eza ffeeza zaali za kufumba ebinnya eby'awatukuvu, n'ebinnya eby'eggigi; ebinnya kikumi byava mu ttalanta kikumi, buli kinnya ttalanta. 28Ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano n'azikoza ebikwaso eby'empagi, n'abikka ku mitwe gyazo, n'azikolako emiziziko. 29N'ebikomo eby'ekiweebwayo byali ettalanta nsunvu, ne sekeri enkumi bbiri mu bina. 30#Kuv 26:37; 27:1-4; 36:38; 38:1-4Nabyo n'abikoza ebinnya eby'oluggi olw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto eky'ekikomo, n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, n'ebintu byonna eby'ekyoto, 31#Kuv 27:10-12,16,17,19; 38:10-12,17,31n'ebinnya eby'oluggya okwetooloola n'ebinnya eby'oluggi olw'oluggya, n'enninga zonna ez'eweema, n'enninga zonna ez'oluggya okwetooloola.

Currently Selected:

Okuva 38: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in