Okuva 40
40
1Mukama n'agamba Musa nti 2#Kuv 12:2; 13:4; 26:30Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye olisimba ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu. 3#Kuv 26:31-33; 36:35Era oligiteekamu essanduuko ey'obujulirwa, era olitimba eggigi ku ssanduuko. 4#Kuv 26:35; 37:10,17Era oliyingiza emmeeza, n'oteekateeka ebintu ebigiriko; n'oyingiza ekikondo, n'okoleeza ettabaaza zaakyo. 5#Kuv 30:6,7; 36:37Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky'okwoterezangako obubaane mu maaso g'essanduuko ey'obujulirwa, n'oteekawo akatimba ak'oluggi olw'eweema. 6#Kuv 29:42Era oliteeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo mu maaso g'omulyango ogw'ennyumba y'eweema ey'okusisinkanirangamu. 7#Kuv 30:18Era oliteeka ekinaabirwamu wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okifukamu amazzi. 8#Kuv 27:9,16; 38:9,18Era olisimba oluggya okwetooloola, n'otimba akatimba ak'oluggi olw'oluggya. 9#Kuv 30:23-26Era olitwala amafuta ag'okufukangako, n'ofuka ku weema, ne ku byonna ebirimu, n'ogitukuza, n'ebintu byayo byonna: era eribeera entukuvu. 10#Kuv 29:37; 30:28Era oligafukako ku kyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo, n'ebintu byakyo byonna, n'otukuza ekyoto: n'ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo. 11Era oligafukako ku kinaabirwamu n'entobo yaakyo, n'okitukuza. 12#Kuv 28:41, Leev 8:1-13, Kubal 25:13Era olireeta Alooni n'abaana be ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'obanaaza n'amazzi. 13Era oliyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu; n'omufukako amafuta, n'omutukuza, ampeerereze mu bwakabona. 14Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo: 15n'obafukako amafuta, nga bw'ofuse ku kitaabwe, bampeerereze mu bwakabona: era bwe balifukibwako amafuta, kiribabeerera obwakabona obutalibavaako mu mirembe gyabwe gyonna. 16Musa n'akola bw'atyo: nga byonna Mukama bye yamulagira, bwe yakola bw'atyo.
17Awo olwatuuka mu mwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka ogw'okubiri, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, eweema n'esimbibwa. 18Musa n'asimba eweema, n'ateekawo ebinnya byayo, n'ayimiriza embaawo zaayo, n'ayingiza emiti gyayo, n'awangiza empagi zaayo. 19N'atimba eweema ku nnyumba, n'agiteekako kungulu ekyokubikka ku weema; nga Mukama bwe yalagira Musa. 20#Kuv 25:16N'atwala obujulirwa n'abuteeka mu ssanduuko, n'assa emisituliro ku ssanduuko, n'ateeka entebe ey'okusaasira kungulu ku ssanduuko: 21#Kuv 40:3 n'ayingiza ssanduuko mu weema, n'atimba eggigi eryawulamu, n'akisa essanduuko ey'obujulirwa; nga Mukama bye yalagira Musa. 22#Kuv 40:4N'ateeka emmeeza mu weema ey'okusisinkanirangamu, ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa kkono, ebweru w'eggigi. 23N'agiteekateekako emigaati mu maaso ga Mukama: nga Mukama bwe yalagira Musa. 24N'ateeka ekikondo mu weema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso g'emmeeza, ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa ddyo. 25N'akoleeza ettabaaza mu maaso ga Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa. 26#Kuv 40:5N'ateeka ekyoto ekya zaabu mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso g'eggigi: 27n'akyoterezaako obubaane obw'ebyakaloosa ebiwoomerevu; nga Mukama bwe yalagira Musa. 28N'ateekawo akatimba ak'oluggi olw'eweema. 29#Kuv 29:38-42N'ateeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo ku mulyango ogw'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'akiwaako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta; nga Mukama bwe yalagira Musa. 30#Kuv 40:7N'ateeka ekinaabirwamu wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'akifukamu amazzi, okunaabiramu. 31#Kuv 30:19,20Musa ne Alooni n'abaana be ne bakinaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe; 32bwe baayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, era bwe baasembereranga ekyoto, baanaabanga: nga Mukama bwe yalagira Musa. 33#Kuv 40:8N'asimba oluggya okwetooloola eweema n'ekyoto, n'atimba akatimba ak'oluggi olw'oluggya. Bw'atyo Musa n'amala omulimu.
34 #
Kuv 29:43
Ekire ne kiryoka kibikka ku weema ey'okusisinkanirangamu, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba. 35Musa n'atayinza kuyingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, kubanga ekire kyagituulako, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba. 36#Kubal 9:17Era ekire bwe kyaggibwanga ku weema, abaana ba Isiraeri ne batambulanga, mu lugendo lwabwe lwonna: 37#Kubal 9:19-22naye ekire bwe kitaggibwangako, ne batatambulanga okutuusa ku lunaku lwe kyaggibwangako. 38#Kuv 13:22, Kubal 9:16Kubanga ekire kya Mukama kyabeeranga ku weema emisana, n'ekiro ne mubangamu omuliro, mu maaso g'ennyumba ya Isiraeri yonna, mu lugendo lwabwe lwonna.
Currently Selected:
Okuva 40: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.