YouVersion Logo
Search Icon

Abakkolosaayi 3

3
1 # Zab 110:1, Bak 2:12 Kale oba nga mwazuukirira wamu ne Kristo, munoonyenga ebiri waggulu, Kristo gy'ali ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 2#Mat 6:33Mulowoozenga ebiri waggulu, so si ebiri ku nsi. 3#Bar 6:2Kubanga mwafa, n'obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda. 4#1 Kol 15:43, Baf 1:21, Bag 2:20Kristo, obulamu bwaffe, bw'alirabisibwa, era nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.
5 # Bar 6:6; 8:13, Bef 4:19; 5:3,5 Kale mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu omubi, n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi; 6#Bef 5:6olw'ebyo obusungu bwa Katonda bujja ku baana abatawulira; 7era nammwe mu ebyo mwe mwatambuliranga edda, bwe mwali abalamu mu byo. 8#Bef 4:25-31; 5:4Naye kaakano era nammwe muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, okunyumya eby'ensonyi mu kamwa kammwe: 9#Bef 4:22temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow'edda wamu n'ebikolwa bye, 10#Bef 4:24, Lub 1:27ne mwambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutonda: 11#Bag 3:28awo tewayinza kubeerawo Muyonaani n'Omuyudaaya, okukomolwa n'obutakomolwa, munnaggwanga, Omusukusi, omuddu, ow'eddembe: naye Kristo bye bintu byonna ne mu byonna.
12 # 1 Peet 2:9 Bef 4:2,32; 5:2 Kale mwambalenga ng'abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw'ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza; 13#Mat 6:14, Bef 4:32; 5:2nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo: 14#Bar 13:8,10, Bef 4:3ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira. 15#Bef 4:4, Baf 4:7, 1 Kol 12:13,27Era emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe, era gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mubeerenga n'okwebaza. 16#Bef 5:19Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n'obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwekka na mwekka mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbira Katonda mu kisa mu mitima gyammwe. 17#1 Kol 10:31, Bef 5:20Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe ku bubwe.
18 # Bef 5:22—6:9 Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe. 19#1 Peet 3:7Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakwatirwanga bukambwe. 20Abaana abato, muwulirenga bakadde bammwe mu byonna, kubanga ekyo kye kisiimibwa mu Mukama waffe. 21Bakitaabwe, temunyiizanga baana bammwe, balemenga okuddirira omwoyo. 22Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab'omu mubiri mu byonna, si mu kuweereza okw'okungulu ng'abasiimibwa abantu, wabula mu mutima ogutalina bukuusa, nga mutya Mukama waffe: 23buli kye munaakolanga mukolenga n'omwoyo, nga ku bwa Mukama waffe so si ku bwa bantu; 24nga mumanyi nga mulisasulibwa Mukama waffe empeera ey'obusika: muli baddu ba Mukama waffe Kristo. 25#Bar 2:11Kubanga ayonoona aliweebwa nate nga bwe yayonoona: so siwali kusosola mu bantu.

Currently Selected:

Abakkolosaayi 3: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in