1
Abakkolosaayi 3:13
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw'abeeranga n'ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo
Compare
Explore Abakkolosaayi 3:13
2
Abakkolosaayi 3:2
Mulowoozenga ebiri waggulu, so si ebiri ku nsi.
Explore Abakkolosaayi 3:2
3
Abakkolosaayi 3:23
buli kye munaakolanga mukolenga n'omwoyo, nga ku bwa Mukama waffe so si ku bwa bantu
Explore Abakkolosaayi 3:23
4
Abakkolosaayi 3:12
Kale mwambalenga ng'abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw'ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza
Explore Abakkolosaayi 3:12
5
Abakkolosaayi 3:16-17
Ekigambo kya Kristo kibeerenga mu mmwe n'obugagga mu magezi gonna; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwekka na mwekka mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbira Katonda mu kisa mu mitima gyammwe. Era buli kye munaakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonna mu linnya lya Mukama waffe Yesu, nga mwebaza Katonda Kitaffe ku bubwe.
Explore Abakkolosaayi 3:16-17
6
Abakkolosaayi 3:14
ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira.
Explore Abakkolosaayi 3:14
7
Abakkolosaayi 3:1
Kale oba nga mwazuukirira wamu ne Kristo, munoonyenga ebiri waggulu, Kristo gy'ali ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
Explore Abakkolosaayi 3:1
8
Abakkolosaayi 3:15
Era emirembe gya Katonda giramulenga mu mitima gyammwe, era gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mubeerenga n'okwebaza.
Explore Abakkolosaayi 3:15
9
Abakkolosaayi 3:5
Kale mufiise ebitundu byammwe ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensonyi, omululu omubi, n'okuyaayaana, kwe kusinza ebifaananyi
Explore Abakkolosaayi 3:5
10
Abakkolosaayi 3:3
Kubanga mwafa, n'obulamu bwammwe bukwekeddwa wamu ne Kristo mu Katonda.
Explore Abakkolosaayi 3:3
11
Abakkolosaayi 3:8
Naye kaakano era nammwe muggyeewo byonna, obusungu, ekiruyi, ettima, okuvuma, okunyumya eby'ensonyi mu kamwa kammwe
Explore Abakkolosaayi 3:8
12
Abakkolosaayi 3:9-10
temulimbagananga mwekka na mwekka; kubanga mwamweyambulako omuntu ow'edda wamu n'ebikolwa bye, ne mwambala omuntu omuggya, afuulibwa omuggya olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutonda
Explore Abakkolosaayi 3:9-10
13
Abakkolosaayi 3:19
Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, so temubakwatirwanga bukambwe.
Explore Abakkolosaayi 3:19
14
Abakkolosaayi 3:20
Abaana abato, muwulirenga bakadde bammwe mu byonna, kubanga ekyo kye kisiimibwa mu Mukama waffe.
Explore Abakkolosaayi 3:20
15
Abakkolosaayi 3:18
Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe.
Explore Abakkolosaayi 3:18
Home
Bible
Plans
Videos