Abakkolosaayi 2
2
1Kubanga njagala mmwe okumanya okufuba bwe kuli okunene kwe nnina ku lwammwe n'abo ab'omu Lawodikiya, ne bonna abatalabanga maaso gange mu mubiri; 2#Bak 1:26, Bef 3:18emitima gyabwe giryoke gisanyusibwe, nga bagattibwa wamu mu kwagalana, n'okutuuka ku bugagga bwonna obw'okumanyira ddala okw'amagezi, bategeerenga ekyama kya Katonda, ye Kristo, 3#Is 45:3, Nge 2:3,4, Bef 3:19, 1 Kol 1:24,30omuli obugagga bwonna obw'amagezi n'obw'okutegeera nga bukwekeddwa. 4#Bar 16:18, Bef 4:17; 5:6Ekyo kye njogera nti omuntu yenna alemenga okubalimbalimba mu bigambo eby'okusendasenda. 5#1 Kol 5:3; 14:40Kubanga newakubadde nga ssiriiyo mu mubiri, naye mu mwoyo ndi nammwe, nga nsanyuka era nga ndaba empisa zammwe ennungi, n'obunywevu obw'okukkiriza kwammwe mu Kristo.
6 #
Bef 4:17
Kale nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga bwe mutyo mu ye, 7#Bef 3:17; 2:20,22nga mulina emmizi, era nga muzimbibwa mu ye, era nga munywezebwa okukkiriza kwammwe, nga bwe mwayigirizibwa, nga musukkirira okwebaza.
8 #
Bef 5:6
Mwekuume tewabeerangawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obulimba ebitaliimu, okugobereranga ebyayigirizibwa abantu, okugobereranga eby'olubereberye eby'ensi, okutali kugoberera Kristo: 9#Yok 1:14,16kubanga mu oyo mwe mutuula okutuukirira kwonna okw'Obwakatonda ng'omubiri bwe guli, 10#Bef 1:21era mwatuukiririra mu ye, gwe mutwe ogw'okufuga n'obuyinza bwonna: 11#1 Peet 3:21, Bar 2:29era mwakomolerwa mu oyo obukomole obutakomolebwa na mikono, mu kwambula omubiri ogw'ennyama, mu kukomolebwa kwa Kristo; 12#Bak 3:1, Bar 6:4, Bef 1:19,20bwe mwaziikirwa awamu naye mu kubatizibwa, era kwe mwazuukiriramu olw'okukkiriza okukola kwa Katonda, eyamuzuukiza mu bafu. 13#Bef 2:1,5Nammwe bwe mwali nga mufudde olw'ebyonoono byammwe n'obutakomolebwa mubiri gwammwe, yabafuula balamu wamu naye, bwe yamala okutusonyiwa ebyonoono byaffe byonna; 14#Bef 2:14,15, 1 Peet 2:24n'okusangula endagaano eyawandiikibwa mu mateeka, eyatwolekera, eyali omulabe waffe: nayo n'agiggyamu wakati mu kkubo, bwe yagikomerera ku musalaba; 15#Bak 1:13bwe yayambulira ddala obwami n'amasaza, n'abiwemuukiriza mu lwatu, bwe yabiwangulira ku gwo.
16 #
Bar 14:1-12
Kale omuntu yenna tabanenyanga mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa ssabbiiti: 17#Beb 8:5; 10:1ebyo ky'ekisiikirize ky'ebyo ebigenda okujja; naye omubiri gwe gwa Kristo. 18Omuntu yenna tabanyagangako mpeera yammwe mu kwewombeeka kw'ayagala yekka n'okusinzanga bamalayika, ng'anywerera mu ebyo bye yalaba, nga yeegulumiririza bwereere mu magezi ag'omubiri gwe, 19#Bef 2:21; 4:15,16so nga teyeekwase Mutwe, omuva omubiri gwonna, ennyingo n'ebinyweza nga biguleetera era nga bigugatta wamu, nga gukula n'okukuza kwa Katonda.
20 #
Bag 4:3,9 Oba nga mwafiira wamu ne Kristo okuleka eby'olubereberye eby'ensi, kiki ekibeeteesa wansi w'amateeka, ng'abakyali abalamu mu nsi, 21#Bag 6:8nti Tokwatangako, so tolegangako, so tokomangako 22#Is 29:13, Mat 15:9(ebyo byonna biggweerawo mu kukolebwa) okugobereranga ebiragiro n'okuyigiriza eby'abantu? 23#Bar 13:14, 1 Tim 4:3Ebyo birina ddala ekifaananyi eky'amagezi mu kusinza Katonda abantu kwe bagunja bokka, ne mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri; naye tebiriiko kye bigasa n'akatono olw'okwegomba kw'omubiri.
Currently Selected:
Abakkolosaayi 2: LUG68
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.