YouVersion Logo
Search Icon

1 Peetero 4

4
1 # Bar 6:2,7 Kale kubanga Kristo yabonyaabonyezebwa mubiri, nammwe mwambalenga ebyokulwanyisa gwe mwoyo ogwo; kubanga abonyaabonyezebwa omubiri ng'amaze okuleka ebibi; 2#1 Yok 2:16,17mulyoke mumale ebiro byammwe ebisigaddeyo nga mukyali mu mubiri, si lwa kwegomba kwa bantu, naye olw'ebyo Katonda by'ayagala. 3#Bef 2:2,3, Tit 3:3Kubanga ebiro ebyayita byayinza okutumala okukolanga ab'amawanga bye baagala, n'okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamirira omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n'okusinza ebifaananyi okw'omuzizo: 4ebyo bye bibeewuunyisa kubanga temuddukira wamu nabo mu bukaba obutalabwanga bwe butyo, nga babavuma: 5#Bik 10:42, 2 Tim 4:1, Bar 14:9,10abaliwoza ensonga eri oyo eyeeteeseteese okusala omusango gw'abalamu n'abafu. 6#1 Peet 3:19, Bar 8:10, 1 Kol 5:5Kubanga enjiri kyeyava ebuulirwa era n'abafu, balyoke basalirwe omusango ng'abantu bwe bali mu mubiri, naye babeere abalamu nga Katonda bw'ali mu mwoyo.
7 # 1 Kol 10:11, 1 Yok 2:18 Naye enkomerero ya byonna eri kumpi: kale mwegenderezenga mutamiirukukenga olw'okusaba: 8#Nge 10:12, 1 Peet 1:22, Yak 5:20, 1 Kol 13:7okusinga byonna nga mulina okwagalananga okungi ennyo mwekka na mwekka: kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi: 9#Beb 13:2nga musembezaganyanga awatali kwemulugunya: 10#Luk 12:42nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, nga mukiweereza mwekka na mwekka bwe mutyo, ng'abawanika abalungi ab'ekisa kya Katonda ekitali kimu; 11#Bar 3:2; 12:7, 1 Kol 10:31omuntu yenna bw'ayogeranga, ayogerenga ng'ebiragiro bya Katonda bwe biri; omuntu yenna bw'aweerezanga, aweerezenga ng'amaanyi Katonda g'amuwa bwe gali: mu byonna Katonda agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
12 # 1 Peet 1:6,7 Abaagalwa, temwewuunyanga olw'okwokebwa okuli mu mmwe, okujja gye muli olw'okubakema, ng'abalabye eky'ekitalo: 13#Bik 5:41, Yak 1:2, Bar 8:17, 2 Tim 2:12naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza. 14#1 Peet 2:20, Is 11:2, Zab 89:50,51Bwe muvumibwanga olw'erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe. 15Kubanga omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne: 16#Bik 11:26, Baf 1:20naye omuntu yenna bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo. 17#Ez 9:6, Yer 25:29, 2 Bas 1:8Kubanga obudde butuuse omusango gutandikirwe mu nnyumba ya Katonda: kale, oba nga gusoose gye tuli, enkomerero guliba gutya eri abo abatagondera njiri ya Katonda? 18#Nge 11:31, Luk 23:31Era oba nga kizibu omutuukirivu okulokoka, atatya Katonda omwonoonyi alirabika wa? 19#Zab 31:5Kale n'abo ababonyaabonyezebwa nga Katonda bw'ayagala bamuteresenga Omutonzi omwesigwa, obulamu bwabwe olw'okukola obulungi.

Currently Selected:

1 Peetero 4: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in