1
1 Peetero 4:8
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
okusinga byonna nga mulina okwagalananga okungi ennyo mwekka na mwekka: kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi
Compare
Explore 1 Peetero 4:8
2
1 Peetero 4:10
nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, nga mukiweereza mwekka na mwekka bwe mutyo, ng'abawanika abalungi ab'ekisa kya Katonda ekitali kimu
Explore 1 Peetero 4:10
3
1 Peetero 4:11
omuntu yenna bw'ayogeranga, ayogerenga ng'ebiragiro bya Katonda bwe biri; omuntu yenna bw'aweerezanga, aweerezenga ng'amaanyi Katonda g'amuwa bwe gali: mu byonna Katonda agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.
Explore 1 Peetero 4:11
4
1 Peetero 4:16
naye omuntu yenna bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo.
Explore 1 Peetero 4:16
5
1 Peetero 4:7
Naye enkomerero ya byonna eri kumpi: kale mwegenderezenga mutamiirukukenga olw'okusaba
Explore 1 Peetero 4:7
6
1 Peetero 4:12-13
Abaagalwa, temwewuunyanga olw'okwokebwa okuli mu mmwe, okujja gye muli olw'okubakema, ng'abalabye eky'ekitalo: naye, kubanga mussa kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikkulibwa kw'ekitiibwa kye mulyoke musanyuke n'okujaguza.
Explore 1 Peetero 4:12-13
7
1 Peetero 4:9
nga musembezaganyanga awatali kwemulugunya
Explore 1 Peetero 4:9
8
1 Peetero 4:19
Kale n'abo ababonyaabonyezebwa nga Katonda bw'ayagala bamuteresenga Omutonzi omwesigwa, obulamu bwabwe olw'okukola obulungi.
Explore 1 Peetero 4:19
9
1 Peetero 4:1-2
Kale kubanga Kristo yabonyaabonyezebwa mubiri, nammwe mwambalenga ebyokulwanyisa gwe mwoyo ogwo; kubanga abonyaabonyezebwa omubiri ng'amaze okuleka ebibi; mulyoke mumale ebiro byammwe ebisigaddeyo nga mukyali mu mubiri, si lwa kwegomba kwa bantu, naye olw'ebyo Katonda by'ayagala.
Explore 1 Peetero 4:1-2
10
1 Peetero 4:14
Bwe muvumibwanga olw'erinnya lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atuula ku mmwe.
Explore 1 Peetero 4:14
Home
Bible
Plans
Videos