YouVersion Logo
Search Icon

1 Peetero 3

3
1 # Bef 5:22, Tit 2:5 Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw'empisa z'abakazi baabwe; 2#1 Peet 2:12bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez'okutya. 3#Is 3:18-24, 1 Tim 2:9Obuyonjo bwammwe tebubanga bwa kungulu, obw'okuluka enviiri n'okunaanika ezaabu n'okwambala engoye; 4naye omuntu ow'omwoyo atalabika, mu kyambalo ekitayonooneka, gwe mwoyo omuwombeefu omuteefu, gwe gw'omuwendo omungi mu maaso ga Katonda. 5Kubanga bwe batyo edda era n'abakazi abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera babbaabwe bennyini: 6#Lub 18:12, Nge 3:25nga Saala bwe yawulira Ibulayimu, ng'amuyita omwami: nammwe muli baana b'oyo, bwe mukola obulungi ne mutatiisibwa ntiisa yonna yonna.
7 # Bef 5:25 Bwe mutyo, abasajja, mubeerenga n'abakazi bammwe n'amagezi, nga mussangamu ekitiibwa omukazi ng'ekibya ekisinga obunafu, kubanga nabo basika bannammwe ab'ekisa eky'obulamu; okusaba kwammwe kulemenga okuziyizibwa.
8 # Bar 12:16 Eky'enkomerero, mwenna mubeerenga n'emmeeme emu, abasaasiragana, abaagalana ng'ab'oluganda, ab'ekisa, abawombeefu: 9#Mat 5:44, 1 Bas 5:15, 1 Peet 2:23abatawalananga kibi olw'ekibi, oba ekivume olw'ekivume; naye obutafaanana ng'ebyo, abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayitirwa, mulyoke musikire omukisa.
10 # Zab 34:12-16, Yak 1:26 Kubanga
Ayagala okwegomba obulamu,
N'okulaba ennaku ennungi,
Aziyizenga olulimi lwe mu bubi,
N'emimwa gye giremenga okwogera obukuusa:
11Era yeewalenga obubi, akolenga obulungi;
Anoonyenga emirembe, agigobererenga.
12Kubanga amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu,
N'amatu ge gali eri okusaba kwabwe:
Naye obwenyi bwa Mukama buli ku abo abakola obubi.
13Era ani anaabakolanga obubi, bwe munaanyiikiranga obulungi? 14#Mat 5:10, 1 Peet 2:20, Is 8:12Naye newakubadde nga mubonyaabonyezebwa olw'obutuukirivu, mulina omukisa: era temutyanga kutiisa kwabwe, so temweraliikiriranga; 15#Is 8:13, 1 Peet 1:3,13naye mutukuzenga Kristo mu mitima gyammwe okubeera Mukama wammwe: nga mweteekateeka bulijjo okuddamu buli muntu ababuuzanga ensonga ey'okusuubira okuli mu mmwe, naye n'obuwombeefu n'okutya: 16#1 Peet 2:12nga mulina omwoyo omulungi; olw'ebyo bye baboogerako obubi, balyoke bakwatibwenga ensonyi abavuma empisa zammwe ennungi ez'omu Kristo. 17#1 Peet 2:20-24Kubanga kye kisinga obulungi, Katonda bw'ayagala mu kwagala kwe, mmwe okubonyaabonyezebwa nga mukola obulungi okusinga nga mukola obubi. 18#Bar 6:10, Bef 2:18, Beb 9:28; 10:10Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezebwa olw'ebibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri katonda; bwe yattibwa omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo; 19#1 Peet 4:6era gwe yagenderamu n'abuulira emyoyo egiri mu kkomera, 20#Lub 7:7,17edda abataagonda okugumiikiriza kwa Katonda bwe kwali nga kulindirira mu nnaku za Nuuwa, eryato bwe lyali nga likyasibibwa, amazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye myoyo omunaana: 21#Bef 5:26, Beb 10:22era kaakano ge gaabalokola mmwe mu kifaananyi eky'amazima, kwe kubatizibwa, si kuggyawo mpitambi za mubiri, wabula okuddamu okw'omwoyo omulungi eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo, 22#Bef 1:20,21, Zab 110:1, Bak 1:16ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, bwe yamala okugenda mu ggulu; bamalayika n'abalina obuyinza n'abaamasaza bwe baateekebwa wansi we.

Currently Selected:

1 Peetero 3: LUG68

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in