YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 8

8
Envumbo ey'omusanvu n'ekyoterezo ekya zaabu
1Omwana gw'Endiga bwe yabembula envumbo ey'omusanvu, ne wabaawo akasiriikiriro mu ggulu okumala nga kitundu kya ssaawa.#Zek 2:13, Kaab 2:20 2Ne ndaba bamalayika musanvu abaayimirira mu maaso ga Katonda ne baweebwa obugombe musanvu.#Mat 24:31
3Ne malayika omulala n'ajja ng'alina ekyoterezo ekya zaabu, n'ayimirira okuliraana ekyoto, n'aweebwa obubaane bungi, alyoke abuteeke mu kusaba kw'abatukuvu bonna ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g'entebe.#Am 9:1, Kub 5:8 4N'omukka gw'obubaane ne gulinnya wamu n'okusaba kw'abatukuvu nga guva mu mukono gwa malayika mu maaso ga Katonda.#Zab 141:2 5Malayika n'atwala ekyoterezo, n'akijjuza omuliro ogw'omu kyoto, n'akisuula ku nsi, ne wabaawo okubwatuka n'amaloboozi n'okumyansa n'ekikankano.#Leev 16:12, Kuv 19:16, Ez 10:2
Obugombe omusanvu
(8:6—11:19)
6Awo ne bamalayika omusanvu abaalina obugombe omusanvu ne beeteekateeka okufuuwa.
7Malayika ow'olubereberye n'afuuwa, ne waba omuzira n'omuliro ebitabuddwa n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi, n'ekitundu eky'okusatu eky'ensi ne kiggya, n'ekitundu eky'okusatu eky'emiti ne kiggya, na buli muddo omubisi ne guggya.#Ez 38:22, Yo 2:30, Kuv 9:23-26
8Malayika ow'okubiri n'afuuwa, ekintu ekinene nga kifaanana ng'olusozi olunene olwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja, n'ekitundu eky'okusatu eky'ennyanja ne kifuuka musaayi;#Yer 51:25, Kuv 7:20,21 9n'ekimu eky'okusatu eky'ebitonde eby'omu nnyanja ne bifa, n'ekimu eky'okusatu eky'ebyombo ne kizikirira.
10Malayika ow'okusatu n'afuuwa, emmunyeenye ennene n'eva mu ggulu n'egwa ng'eyaka ng'omumuli, n'egwa ku kitundu eky'okusatu eky'emigga, ne ku nzizi z'amazzi.#Is 14:12, Dan 8:10 11N'erinnya ly'emmunyeenye liyitibwa Abusinso, n'ekitundu eky'okusatu eky'amazzi ne kifuuka abusinso, n'abantu bangi ne bafa olw'amazzi, kubanga gaakaayizibwa.
12Malayika ow'okuna n'afuuwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'enjuba ne kikubibwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'omwezi, n'ekitundu eky'okusatu eky'emmunyeenye, ekitundu eky'okusatu ekyabyo kiryoke kizikizibwe, n'omusana guleme okwaka ekitundu kyagwo eky'okusatu, n'ekiro bwe kityo.#Kub 6:12, Kuv 10:21
13Ne ndaba, ne mpulira empungu emu ng'ebuuka wakati w'eggulu, ng'eyogera n'eddoboozi ddene nti, “Zibasanze, zibasanze, zibasanze abatuula ku nsi, olw'amaloboozi agasigaddeyo ag'akagombe ka bamalayika abasatu abagenda okufuuwa!”#Kub 9:12; 11:14

Currently Selected:

Okubikkulirwa 8: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in