YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 9

9
1Malayika ow'okutaano n'afuuwa, ne ndaba emmunyeenye ng'eva mu ggulu ng'egwa ku nsi, n'aweebwa ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma.#Kub 8:10; 20:1 2N'asumulula obunnya obutakoma; n'omukka ne guva mu bunnya ne gulinnya ng'omukka gw'enkoomi ennene, n'enjuba n'ebbanga ne bibuna enzikiza olw'omukka ogwava mu bunnya.#Lub 19:28, Kuv 19:18, Yo 2:2,10 3Ne mu mukka ne muvaamu enzige okujja ku nsi, ne ziweebwa obuyinza, ng'enjaba ez'obusagwa ez'omu nsi bwe zirina obuyinza.#Kuv 10:12,15 4Ne zigambibwa obutayonoona muddo gwa nsi, newakubadde ekintu kyonna ekibisi newakubadde omuti gwonna, wabula abantu bokka abataliiko nvumbo ya Katonda ku byenyi byabwe.#Ez 9:4, Kub 7:3 5Ne ziweebwa obutabatta, wabula okubalumira emyezi etaano, n'okuluma kwazo kwali ng'okuluma kw'enjaba ey'obusagwa bw'eruma omuntu. 6Mu nnaku ezo abantu balinoonya okufa, so tebalikulaba n'akatono; era balyegomba okufa, era okufa nga kubadduka.#Yob 3:21, Luk 23:30 7Enzige zino mu ndabika zaali zifaanana ng'embalaasi ezitegekeddwa olutalo, ne ku mitwe gyazo nga kuli ng'okutikkiddwa engule eza zaabu, n'ebyenyi byazo nga biri ng'eby'abantu.#Yo 2:4 8Era obwoya bwazo nga buli ng'enviiri z'abakazi, n'amannyo gaazo gaali ng'ag'empologoma.#Yo 1:6 9Zaali zibikiddwako eby'omu kifuba nga biringa eby'ekyuma, n'eddoboozi ly'ebiwaawaatiro byazo nga liringa eddoboozi lya nnamuziga w'amagaali ag'embalaasi ennyingi nga zifubutuka okuyingira mu lutalo.#Yo 2:5 10Era zirina emikira egifaanana ng'enjaba ez'obusagwa nga giriko n'enkato, ne mu mikira gyazo nga mulimu obuyinza obw'okulumira abantu emyezi etaano. 11Zirina kabaka waazo malayika ow'obunnya obutakoma, erinnya mu Lwebbulaniya ye Abadoni, ne mu Luyonaani erinnya nga ye Apolwoni.
12Eky'entiisa ekisooka ne kiyita, naye ng'ekyaliyo bya mirundi ebiri ebijja!#Kub 8:13; 11:14
13Malayika ow'omukaaga n'afuuwa, ne mpulira eddoboozi nga lyogera okuva mu mayembe ana agali ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda, #Kuv 8:3; 30:1-3 14ng'aligamba malayika ow'omukaaga eyalina akagombe nti, “Sumulula bamalayika abana abasibirwa ku mugga omunene Fulaati.”#Lub 15:18, Ma 1:7, Yos 1:4, Kub 16:12 15Bamalayika abana ne basumululwa abaali bateegekeddwa essaawa n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okutta ekitundu eky'okusatu eky'abantu.#Kub 8:7-12 16Ne mpulira omuwendo gw'eggye ery'abeebagala embalaasi gwali obukadde bibiri (200,000,000). 17Era bwe nti bwe nnalaba embalaasi mu kwolesebwa kuno, n'abo abaali bazituddeko, nga bambadde eby'omu kifuba ng'eby'omuliro n'ebya kazigizigi n'eby'ekibiriiti: n'emitwe egy'embalaasi gyali gifaanana ng'emitwe gy'empologoma, ne mu bumwa bwazo ne muva omuliro n'omukka n'ekibiriiti. 18Mu bibonyoobonyo ebyo byonsatule, kwe kugamba nti omuliro n'omukka n'ekibiriiti ebyava mu bumwa bwazo, ne bitta ekitundu ekimu eky'okusatu eky'abantu. 19Kubanga obuyinza bw'embalaasi ezo bwali mu kamwa kaazo, ne mu mikira gyazo, kubanga emikira gyazo gyali gifaanana ng'emitwe gy'emisota, era nga gye zirumisa. 20N'abantu abaasigalawo, abatattibwa mu bibonyoobonyo ebyo, tebeenenya mu bikolwa by'emikono gyabwe, obutasinza balubaale, n'ebifaananyi ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ebikomo n'eby'amayinja n'eby'emiti, ebitayinza kulaba newakubadde okuwulira, newakubadde okutambula, #Is 2:8,20; 17:8, Dan 5:4, 1 Kol 10:20, Zab 115:4; 135:15, Kub 16:9,11,21 21ne bateenenya mu bussi bwabwe, newakubadde mu bulogo bwabwe, newakubadde mu bwenzi bwabwe, newakubadde mu bubbi bwabwe.#2 Bassek 9:22

Currently Selected:

Okubikkulirwa 9: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in