YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 2

2
Ebbaluwa z'ekkanisa omusanvu
(2:1—3:22)
Ebbaluwa eyawandiikirwa ab'omu Kkanisa y'omu Efeso
1 “Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ebikondo by'ettaala omusanvu eza zaabu, # Kub 1:13,16,20 2nti Mmanyi ebikolwa byo, n'okufuba kwo n'okugumiikiriza kwo, era nga toyinza kugumiikiriza babi, era wabakema abeeyita abatume so nga si bo, era wabalaba nga balimba;#1 Yok 4:1 3mmanyi nga oli mugumiikiriza, era waguma olw'erinnya lyange, n'otokoowa. 4Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga waleka okwagala kwo okw'olubereberye. 5Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okole ebikolwa bye wakolanga olubereberye. Bw'otolikola bw'otyo, ndijja gy'oli, ne nziggyawo ekikondo ky'ettaala yo mu kifo kyayo, okuggyako nga weenenyeza. 6Naye kino kye kirungi ky'olina, okyawa ebikolwa by'Abanikolayiti, nange bye nkyawa.#Zab 139:21 7Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda.” #Kub 22:2, Ez 31:8, Lub 2:9; 3:22,24, Luk 23:43, 2 Kol 12:4
Ebbaluwa eyawandiikirwa ab'omu Kkanisa y'omu Sumuna
8 “Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Sumuna wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde ate n'aba omulamu # Is 44:6; 48:12 9nti Mmanyi okubonaabona kwo n'obwavu bwo, naye ng'oli mugagga, n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya so nga si bo, naye kkuŋŋaaniro lya Setaani.#Kub 3:9, Yak 2:5, 2 Kol 11:14,15 10Totya by'ogenda okubonaabona, laba, Setaani anaatera okusuula abamu mu mmwe mu kkomera okubagezesa, era mulibonaabonera ennaku kkumi (10). Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu.#Dan 1:12,14, Mat 10:28, Kub 3:11, 2 Tim 4:8 11Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula talirumwa n'akatono kufa kwa kubiri.”#Kub 20:14
Ebbaluwa eyawandiikirwa ab'omu Kkanisa y'omu Perugamo
12 “Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Perugamo wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo alina ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, # Is 49:2, Beb 4:12, Kub 1:16; 19:15 13nti Mmanyi gy'otuula awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani, kyokka ng'onywezeza erinnya lyange, era nga teweegaana kukkiriza kwange, ne mu biseera bya Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe, eyo Setaani gy'abeera.#Kub 13:2; 3:8 14Naye nnina ensonga ntono ku ggwe, eyo olinayo abantu abagoberera okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g'abaana ba Isiraeri, n'abaliisa ebyaweebwa eri ebifaananyi n'okwenda.#Kubal 31:16; 25:1,2, Yud 11 15Era olinayo n'abakwata okuyigiriza kwa Banikolayiti. 16Kale weenenye; naye bw'otolyenenya, ndijja gy'oli mangu, ne nnwana nabo n'ekitala eky'omu kamwa kange. 17Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya, eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweebwa.”#Zab 78:24, Kub 3:12, Is 62:2; 65:15
Ebbaluwa eyawandiikirwa ab'omu Kkanisa y'omu Suwatira
18 “Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Suwatira wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule, # Dan 10:6 19nti Mmanyi ebikolwa byo n'okwagala n'okukkiriza n'okuweereza n'okugumiikiriza kwo, n'ebikolwa byo eby'oluvannyuma nga bingi okusinga eby'olubereberye. 20Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi Yezeberi, eyeeyita nnabbi, akyamya abaweereza bange mu bwenzi n'okulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi.#1 Bassek 16:31, 2 Bassek 9:22, Kubal 25:1,2 21N'amuwa ebbanga okwenenya, n'agaana okwenenya obwenzi bwe. 22Laba ndi muteeka ku ndiri ne mulwaza, era mubonyebonye wamu ne be yayendanga n'abo, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe. 23Era n'abaana be ndibatta n'olumbe, olwo ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima, era nga ndisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe biri.#Zab 7:9; 62:12, Yer 11:20; 17:10 24Naye mmwe mbagamba, abasigalawo ab'omu Suwatira, bonna abatalina kuyigiriza kuno, abatamanyi bya buziba bya Setaani, nga bwe boogera, sibateekako mmwe mugugu mulala. 25Wabula kye mulina mukikwatenga, okutuusa lwe ndijja.#Kub 3:11 26Oyo awangula n'akwatanga ebikolwa byange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza ku mawanga, #Zab 2:8 27era aligalunda n'omuggo ogw'ekyuma, n'agaasaayasa ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika, nange nga bwe nnaweebwa Kitange.#Kub 12:5 28Era ndimuwa emmunyeenye ey'enkya. 29Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa.”

Currently Selected:

Okubikkulirwa 2: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in