YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa 1

1
Ennyanjula
1Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebiteekwa okubaawo amangu, ate ye n'abiyisa mu malayika we gwe yatuma eri omuweereza we Yokaana,#Dan 2:28,29 2eyategeeza ekigambo kya Katonda n'obujulirwa bwa Yesu Kristo ku byonna bye yalaba.#Kub 6:9 3Alina omukisa oyo asoma, n'abo abawulira ebigambo by'obunnabbi buno, era n'abakwata ebiwandiikiddwa mu bwo: kubanga ekiseera kiri kumpi.#Kub 22:7,10
4Yokaana eri ekkanisa omusanvu ez'omu Asiya: Ekisa kibeerenga nammwe n'emirembe ebiva eri oyo abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo; era ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g'entebe ye,#Kuv 3:14,15, Is 41:4, Kub 3:1; 5:6 5era ebiva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, omubereberye w'abafu, era afuga bakabaka b'omu nsi. Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw'omusaayi gwe;#Zab 89:27,37; 130:8, Is 40:2, Yok 18:37, Bak 1:18, Beb 9:14, Kub 3:14; 7:14; 19:16 6n'atufuula obwakabaka, bakabona eri Katonda Kitaawe; ekitiibwa n'obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n'emirembe. Amiina.#Kub 5:10, 1 Peet 2:5,9, Kuv 19:6, Is 61:6 7Laba, ajja n'ebire, era buli liiso lirimulaba, n'abo abaamufumita; n'ebika byonna eby'omu nsi birimukubira ebiwoobe. Weewaawo, Amiina.#Dan 7:13, Zek 12:10-14, Yok 19:37, Luk 23:27,28
8 “Nze Alufa ne Omega, Owolubereberye, era Owenkomerero” bw'ayogera Mukama Katonda, “abaawo era eyabaawo era ajja okubaawo, Omuyinza w'ebintu byonna.”#Kuv 3:14, Is 41:4, Kub 4:8; 21:6
9Nze Yokaana, muganda wammwe, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw'ekigambo kya Katonda era n'olw'okujulira ebya Yesu. 10Nnali mu Mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe, ne mpulira emabega wange eddoboozi ddene, ng'ery'akagombe, 11ne ligamba nti, “ Nze Alufa ne Omega, Owolubereberye era Owenkomerero,Wandiika by'olaba mu kitabo, okiweereze ekkanisa omusanvu ez'omu Asiya : ey'omu Efeso, ey'omu Sumuna, ey'omu Perugamo, ey'omu Suwatira, ey'omu Saadi, ey'omu Firaderufiya, n'ey'omu Lawodikiya.”#Kub 2:8; 22:13 12Ne nkyuka okulaba eddoboozi eryayogera nange. Bwe n'akyuka, ne ndaba ebikondo by'ettaala musanvu ebya zaabu; 13ne wakati w'ebikondo by'ettaala ne ndaba afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'ayambadde okutuuka ku bigere, era ng'asibiddwa mu kifuba olukoba olwa zaabu.#Ez 1:26; 8:2, Dan 7:13; 10:5 14N'omutwe gwe n'enviiri ze byali byeru ng'ebyoya by'endiga era nga bitukula ng'omuzira, n'amaaso ge nga gali ng'ennimi z'omuliro, #Dan 7:9; 10:6, Kub 2:18; 19:12 15n'ebigere bye nga bifaanana ng'ekikomo ekizigule, ng'ekirongooseddwa mu muliro; n'eddoboozi lye nga liri ng'eddoboozi ly'amazzi amangi.#Ez 1:24; 43:2 16Yali ng'akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu, ne mu kamwa ke ne muvaamu ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, n'obwenyi bwe nga buli ng'enjuba bw'eyaka mu maanyi gaayo.#Balam 5:31, Kub 2:12,16; 19:15 17Bwe nnamulaba, ne ngwa ku bigere ne mba ng'afudde. N'anteekako omukono gwe ogwa ddyo, ng'ayogera nti, “Totya, nze Owolubereberye era Owenkomerero,#Is 44:6; 48:12, Dan 8:18; 10:15-19 18era Omulamu; nnali nfudde, era, laba, kati ndi mulamu emirembe n'emirembe, era nnina ebisumuluzo eby'okufa n'eby'Emagombe. 19Kati wandiika by'olabye, ebiriwo, n'ebigenda okubaawo oluvannyuma lw'ebyo. #Is 48:6, Dan 2:29 20Ekyama ky'emmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo n'ebikondo by'ettaala omusanvu ebya zaabu n'emmunyeenye omusanvu be bamalayika b'ekkanisa omusanvu n'ebikondo by'ettaala ze kkanisa omusanvu.”#Mal 2:7, Dan 2:29, Kub 13:2; 3:8

Currently Selected:

Okubikkulirwa 1: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in