YouVersion Logo
Search Icon

Okubikkulirwa Ennyanjula

Ennyanjula
Kirowoozebwa nti ekitabo ky'Okubikkulirwa kyawandiikibwa omutume Yokaana bwe yali asibiddwa ku kizinga Patumo. Ebbaluwa eno yagiwandiikira amakkanisa omusanvu agali mu kitundu ekyo ekya Buyonaani. Ekitabo kino kitandika ne bbaluwa omusanvu Kristo zeyaweereza ekkanisa omusanvu. Buli kkanisa Kristo agimanyiko ebirungi n'ebibi era n'agigamba kyeteekwa okukola. Oluvannyuma lw'ebbaluwa ezo, Yokaana ategeeza ebyo bye yayolesebwa. Ekkanisa eragibwa ng'eri mu kiseera kyakubonaabona, naye nga kya kiseera kitono. Yesu Kristo, kabaka wa bakabaka ajja kuwa ekkanisa obuwanguzi, olwo obujeemu bwonna buggibweewo emirembe gyonna. Ekitabo kino kyawandiikibwa mu 95 AD.
Ebiri mu kitabo
I. Ennyanjula (1:1-20).
II. Ebbaluwa za Yesu eri ekkanisa omusanvu (2:1—3:22).
III. Yokaana bye yayolesebwa (4:1—5:14).
IV. Envumbo omusanvu (6:1—8:5).
V. Obugombe omusanvu (8:6—11:19).
VI. Obubonero omusanvu (12:1—14:20).
VII. Ebibonyoobonyo omusanvu (15:1—16:21).
VIII. Obuwanguzi bwa Katonda (17:1—22:5).
IX. Okuwumbawumba (22:6-21).

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in