YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 40

40
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
Okukola Katonda byayagala
1Mu bugumikiriza nnalindirira Mukama,
Nnantegera okutu, n'awulira okukaaba kwange.#Zab 37:7; 39:12
2Yanzigya mu bunnya obw'okuzikirira, ne mu bitositosi,
N'ateeka ebigere byange ku lwazi,
n'annyweza nga ntambula.#Zab 27:5; 69:2,14
3Yanjigiriza oluyimba oluggya,
olutendereza Katonda waffe.
Bangi abaliraba kino ne batya,
Ne beesiga Mukama.#Zab 33:3; 52:6
4Wa mukisa omuntu eyeesiga Mukama,
Atassamu ba malala kitiibwa wadde abo abasinza ebitali Katonda.#Zab 2:12; 125:5
5Ayi Mukama, Katonda wange,
eby'ekitalo by'otukolera bingi, tewali akwenkana.
By'otuteekerateekera bingi,
Sisobola kubimenya kinnakimu,
Wadde okubyogerako,
Tebibalika obungi.#Yob 5:9, Zab 139:17,18
6 # Beb 10:5-7 Ssaddaaka n'ebiweebwayo si by'oyagala.
Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi, tobyetaaga.
Wabula wampa amatu mpulire.#1 Sam 15:22, Zab 51:16, Kos 6:6, Mat 9:13
7Ne ndyoka njogera nti, “Nzuuno, nzize.”
Ebinjogerako biwandiikiddwa mu muzingo gw'ekitabo.#Luk 24:44
8Nsanyuka okukola by'oyagala, Ayi Katonda wange,
Era nkuuma amateeka go,
mu mutima gwange munda.#Yob 23:12, Zab 119:35, Yer 15:16, Yok 4:34, Bar 7:22
9Mbuulidde obulokozi bwo mu kibiina ekinene.
Ayi Mukama, ggwe omanyi,
Siirekangayo kukyogerako ekyo.#Yos 22:22, Zab 22:22,25, Bik 20:20,27, Bar 1:16,17
10Sikwekanga bulokozi bwo ne siibwogerako.
Mbuulidde obwesige bwo n'amazima go.
Ekisa kyo n'amazima go sibikisanga ekibiina ekinene.
11Naawe, Ayi Mukama, tolekaayo kunsaasira.
Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga ennaku zonna.#Zab 57:3; 61:7
12Kubanga nneetooloddwa ebizibu bingi ebitabalika.
Mbikkiddwa ebibi byange, ssiyinza kulaba.
Bisinga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi,
era mpweddemu amaanyi.#Zab 38:4,10; 116:3
13 # Zab 70:1-5 Kkiriza, Ayi Mukama, okumponya.
Yanguwa okunnyamba, Ayi Mukama.#Zab 38:22
14Bonna bakwatibwe ensonyi baswale,
Abaagala okunzita,
Abasanyukira obuyinike bwange.
Bazzibwe emabega nga baswadde.#Zab 6:10; 35:4
15Abansekerera baswale.#Zab 35:21,25
16Bonna abakunoonya basanyuke, bajaguze.
Abo abakwebaza olw'okubalokola, boogerenga bulijjo nti,
“Mukama agulumizibwe.”#Zab 35:27
17Naye nze ndi mwavu, ndi mu bwetaavu,
Naye Mukama andowoozaako.
Ggwe mubeezi wange era omulokozi wange.
Tolwawo, Ayi Katonda wange.#Zab 86:1, 1 Peet 5:7

Currently Selected:

Zabbuli 40: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in