YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 39

39
Ya mukulu w'abayimbi, ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.
Okusaba amagezi n'okuluŋŋamizibwa
1Nnagamba nti, “Nneekuumanga amakubo gange,
Nnemenga okusobya mu bye njogera.
Nnaasirikanga,
Ababi nga bali nange.”#1 Bassek 2:4, Yob 2:10, Zab 34:13
2Nnasiruwala ne nsirika
n'ebirungi saabyogera;
Okunakuwala kwange ne kweyongera.#Yob 40:4,5
3Ne nneeraliikirira,
Bwe nnalowoozanga, nga nnyongera kweraliikirira.
Ne ndyoka ŋŋamba nti:#Yer 20:9, Luk 24:32
4“Mukama, ontegeeze enkomerero yange,
N'ebbanga lye ndiwangaala.
Ntegeere bwe ndi omumenyefu.#Zab 90:12
5Laba, ennaku zange wazigerera ku luta.
N'obulamu bwange buli nga si kintu gy'oli:
Mazima, buli muntu, n'ebwawangaala, mukka bukka.#Yob 14:1,2, Zab 62:9; 89:47 (Seera)
6Mazima buli muntu atambulira mu kifaananyi ekitaliimu.
Mazima, beeraliikiririra bwereere:
Akuuma obugagga, so tamanya agenda okubutwala.#Yob 27:16,17, Mub 2:18,21, Luk 12:20, 1 Kol 7:31, Yak 4:14
7Ne kaakano, Mukama, nnindirira ki?
Mu ggwe mwe nnina essuubi.#Zab 38:15
8Nziggyaako ebibi byange byonna,
Tonfuula kivume ky'abasirusiru.#Zab 44:13
9Nnasiruwala, ssaayogera,
Kubanga wakikola.#2 Sam 16:10, Yob 2:10, Zab 38:13
10Toyongera kumbonereza,
Amaanyi gampeddemu olw'okukuba kwo
11Bw'obonereza omuntu olw'okwonoona kwe,
Omumaliramu ddala obulungi bwe, nebuba nga obuliriddwa ennyenje.
Mazima, buli muntu mukka bukka.#Yob 13:28, Zab 39:5; 49:14 (Seera)
12Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
owulire okukaaba kwange.
Olw'okukaaba kwange, nnyamba.
Kubanga nze ndi mugenyi gy'oli,
Omutambuze, nga bajjajjange bonna bwe baali.#Leev 25:23, 1 Byom 29:15, Zab 102:1, Beb 11:13
13Onsaasire, ndyoke nziremu amaanyi,
Nga sinnava muno ne ssibeerawo.”#Yob 10:20,21; 14:10-12

Currently Selected:

Zabbuli 39: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in