YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 36

36
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi omuddu wa Mukama.
Katonda ensibuko y'obulamu
1Ekibi kyogerera mu mutima gw'omwonoonyi nti,
“Tossaamu Katonda kitiibwa n'akatono.”#Bar 3:18
2Kubanga yeegulumiza,
N'alowooza nti ekibi kye tekirirabibwa ne kikyayibwa.#Ma 29:19
3Ebigambo by'ayogera bibi era bya bulimba.
Aleseeyo okukola eby'amagezi era ebirungi.#Zab 12:2
4Ateesa obutali butuukirivu ku kitanda kye;
Yeeteeka mu kkubo eritali ddungi;
Takyawa bubi.#Is 65:2, Mi 2:1
5Ekisa kyo, Ayi Mukama, kituuka ne ku ggulu,
Obwesige bwo butuuka ne mu bire.#Zab 57:10; 89:2
6Obutuukirivu bwo buli ng'ensozi engulumivu,
Ennamula yo ekka ng'ennyanja ey'eddubi.
Ayi Mukama, ggwe owonya abantu n'ebisolo.#Yob 11:8, Zab 71:19; 92:5; 104:14,15, Bar 11:33
7Ekisa kyo, Ayi Katonda, nga kya muwendo mungi!
Era abantu baddukira gy'oli.#Zab 17:8; 31:19
8Banakkusibwa emmere ennyingi gy'obawa mu nnyumba yo.
Obaleka ne banywa amazzi ku mugga ogw'essanyu lyo.#Zab 16:11; 46:4; 65:4, Is 25:6, Kub 22:1
9Kubanga w'oli we wali oluzzi olw'obulamu.
Mu musana gwo naffe mwe tunaalabiranga omusana.#Yer 2:13, Yok 1:9; 4:10,14, Bik 26:18, 1 Peet 2:9, Kub 21:6
10Kale yongera ekisa kyo eri abo abakumanyi,
N'obulungi bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.#Yer 22:16
11Toganya ab'amalala okunnumba,
wadde ababi okungoba we ndi.
12Laba aboonoonyi bwe bagudde eri,
Bameggeddwa wansi, era tebasobola kusitukawo.#Zab 1:5

Currently Selected:

Zabbuli 36: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in