YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 35

35
Zabbuli ya Dawudi.
Okwesiga Katonda
1Ayi Mukama, wakana n'abo abawakana nange,
Lwana n'abo abalwana nange.
2Kwata engabo n'akagabo,
Osituukiremu onnyambe.#1 Peet 2:3, Kuv 14:25, Is 49:25
3Galula effumu lyo,
Eri abo abanjigganya,
Oŋŋambe nti,
“Nze bulokozi bwo.”
4 # Zab 35:26; 40:14; 70:2; 71:13 Bakwatibwe ensonyi baswale,
Abaagala okunzita,
Bazzibwe emabega nga basobeddwa abateesa okunkola akabi.#Zab 69:22-28; 109:6-15
5Malayika wa Mukama abagobe,
Babe ng'ebisusunku ebitwalibwa embuyaga.#Yob 21:18
6Ekkubo lyabwe libeemu ekizikiza
n'obuseerezi.
Malayika wa Mukama mw'abagobera.#Zab 73:18, Yer 23:12
7Kubanga bantega ekitimba,
Awatali nsonga,
Baasima obunnya mbugwemu.
8Okuzikirira kubatuukeko nga tebamanyi,
N'ekitimba kye bantega kikwase bo
Bennyini bazikirire.#Zab 7:15, Nge 5:22, 1 Bas 5:3
9Olwo ndisanyukira Mukama,
Ndijaguza olwo obulokozi bwe.#Zab 9:14, Is 61:10, Luk 1:47
10N'omutima gwange gwonna ndigamba nti, “Mukama, ani afaanana nga ggwe,
Awonya omunafu eri oyo amusinga amaanyi,
Awonya omwavu eri oyo amunyagako ebibye?”#Zab 51:8; 71:19; 86:8
11Abajulirwa ab'obulimba basituka
Bannumiriza ebigambo bye ssimanyinako.#Zab 27:12
12Bansasula obubi ku lw'obulungi,
Ne bammalamu amaanyi.#Zab 38:20, Yer 18:20
13Naye bo bwe baalwala, n'ayambala ebibukutu,
Ne nnebonereza nga nsiiba,
Ne nsaba Katonda nga nkutamizza omutwe.#1 Bassek 20:31, Yob 30:25, Zab 69:10,11, Mat 10:13
14Nnakola nga bwe nandikoledde mukwano gwange,
oba muganda wange,
Ne nkutama ne nnakuwala ng'afiiriddwa nnyina.#Zab 38:6
15Naye nze bwe n'agwa ku kizibu ne basanyuka, ne bakuŋŋaana okunsekerera.
Ne be simanyi,
Ne banjeyereza obutasalako.
16Ne banduulira ng'abatatya Katonda,
Ne baluma obujiji nga bansunguwalidde.#Zab 37:12
17Ayi Mukama, olituusa wa okutunula obutunuzi?
Mponya abaagala okunzita.
Obulamu bwange buwonye empologoma zino.#Zab 22:20, Kaab 1:13
18Olwo ndikwebaliza mu kibiina ekinene,
Ndikutenderereza mu bantu abangi.#Zab 22:22,25
19Abalabe bange abampaayiriza, tobakkiriza kunneewaanirako.
Era abankyawa awatali nsonga, tobaganya kunyigiragana ku liiso ku lwange nga basanyuka.#Zab 69:4, Yok 15:25
20Kubanga teboogera bya mirembe,
Naye bateesa ebigambo eby'obulimba ku abo abateredde emirembe mu nsi.
21Bannumiriza nga baleekaana nti,
“Twalaba kye wakola!#Zab 22:3; 70:3
22Bino byonna wabiraba, ayi Mukama, tosirika busirisi.
Ayi Mukama, tombeera wala.#Kuv 3:7, Zab 10:1; 28:1
23Situka, Ayi Mukama, ontaase.
Osale omusango gwange,
Katonda wange era Mukama wange.#Zab 7:6; 44:23
24Sala omusango gwange, Ayi Mukama Katonda wange, ng'obutuukirivu bwo bwe buli;
Toganya balabe bange kunneewaanirako.#Zab 7:8; 35:19
25Baleme kugamba mu mitima gyabwe nti, Otyo, tufunye kye twagala:
Oyo Tumumize bugobo!#2 Sam 17:16, Kung 2:16
26Bonna abasanyukira nze okulaba akabi, bakwatibwe ensonyi baswale.
Bajjule ensonyi n'okunyoomebwa abanneegulumirizaako.#Yob 8:22; 19:5, Zab 35:4
27Boogerere waggulu olw'essanyu,
bajaguze, abo abaagala nsinge omusango.
Era boogerenga bulijjo nti, Mukama agulumizibwe,
Asanyuka okulaba ng'omuddu we ng'awangudde.#Zab 40:16; 70:4
28Olwo ndirangirira obutuukirivu bwo,
Ne ttendo lyo obudde okuziba.”#Zab 51:14; 71:24

Currently Selected:

Zabbuli 35: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy