YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 34

34
Zabbuli ya Dawudi; bwe yawaanyisa empisa ze mu maaso ga Abimereki, eyamugoba, n'agenda.
Katonda akuuma abatuukirivu
1Nneebazanga Mukama mu biro byonna,
Nnamutenderezanga bulijjo.
2Emmeeme yange eneenyumiririzanga mu Mukama,
Ababonaabona bawulire basanyuke.#Zab 44:8, Yer 9:24, 1 Kol 1:31
3Mujje tugulumize Mukama,
Tugulumize erinnya lye fenna.#Zab 69:30, Luk 1:46
4Nneegayirira Mukama, n'anziramu,
N'andokola mu kutya kwange kwonna.#Zab 18:6, Mat 7:7
5Mumutuunulire, musanyuke,
Temulikwatibwa nsonyi n'akatono.
6Omunaku ono yakoowoola, Mukama n'amuwulira,
N'amulokola mu nnaku ze zonna.#2 Sam 22:1
7Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, N'abalokola.#Lub 32:1,2, 2 Bassek 6:17, Dan 6:22, Beb 1:14
8Mulegeeko mulabe nga Mukama bw'ali omulungi.
Wa mukisa oyo amwesiga.#Zab 2:12, Beb 6:5, 1 Peet 2:3
9Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be,
Kubanga tebabulwa kintu abamutya,#Baf 4:19
10Obwana bw'empologoma oluusi bubulwa emmere ne bulumwa enjala;
Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna.#Yob 4:10,11, Zab 84:11
11Mujje, baana bange, mumpulire,
Mbayigirize okutya Mukama.#Zab 66:16
12Oyagala okunyumirwa obulamu, okuwangaala n'okufuna ebirungi?#1 Peet 3:10-12
13Ziyizanga olulimi lwo okwogera obubi,
N'emimwa gyo obutoogeranga bya bulimba.#Zab 15:3; 141:3, Yak 1:26, 1 Peet 2:1,22, Kub 14:5
14Va mu bubi, okolenga obulungi;
Noonyanga emirembe, ogigobererenga.#Zab 37:27, Bar 12:18; 14:19, 3 Yok 11
15Amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu,
Era awulira okukaaba kwabwe.#Zab 33:18, Yok 9:31
16Obwenyi bwa Mukama buba ku abo abakola obubi,
Alaba nti tebajjukirwenga mu nsi.#Zab 33:18, Yok 9:31
17Abatuukirivu baakoowoola, Mukama n'awulira,
N'abalokola mu nnaku zaabwe zonna.
18Mukama ali kumpi n'abo abalina omutima ogumenyese.
Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.#Zab 51:17, Is 61:1; 66:2
19Ebibonoobono eby'omutuukirivu bingi,
Naye Mukama amulokola mu byonna.#Zab 34:6, Bik 12:11, 1 Tim 3:11,12
20Akuuma amagumba ge gonna,
Nekutamenyekako na limu.#Kuv 12:46, Yok 19:36
21Obubi bulitta omubi,
N'abo abakyawa omutuukirivu balisingibwa omusango.#Zab 7:15,16; 94:23
22Mukama anunula abaddu be,
So tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango.#Zab 25:22; 103:4, Bar 8:33,34

Currently Selected:

Zabbuli 34: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy