Zabbuli 129
129
Oluyimba olw'oku madaala.
Okununulwa okuva mu babi
1Emirundi mingi gye bambonyabonyezza okuva mu buvubuka bwange
Isiraeri ayogere kaakano;#Kuv 1:14, Zab 124:1, Yer 2:2, Kos 2:15
2Emirundi mingi gye baakambonyabonyezza okuva mu buvubuka,
Naye tebaampangudde.#2 Kol 4:8,9
3Bakubye omugongo gwange ne babanga abakabala ennimiro,
Gujjudde enkovu.#Is 51:23, Mi 3:12
4Mukama mutuukirivu;
Asazeesaze emigwa egy'ababi.
5Bakwatibwe ensonyi, bazzibwe emabega,
Bonna abakyawa Sayuuni.#Zab 35:4
6Babe ng'omuddo ogumera waggulu ku nnyumba,
Oguwotoka nga tegunnakula.#2 Bassek 19:26, Yob 8:12
7Omukunguzi tayinza gujjuza mu lubatu lwe,
Newakubadde asiba oguwezaamu ekinywa.
8wadde abayitawo baleme kwogera
Nti, “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe!
Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama!”#Luus 2:4, Zab 118:26
Currently Selected:
Zabbuli 129: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.