Zabbuli 130
130
Oluyimba olw'oku madaala.
Okuteeka essuubi mu Katonda
1Ayi Mukama nkukaabira nga nsobeddwa;#Kung 3:55, Yon 2:2
2Mukama, owulire eddoboozi lyange;
Otege amatu go eri
Eddoboozi ery'okwegayirira kwange.#Zab 86:6
3Mukama, bw'onoobalanga ebitali bya butuukirivu,
Ayi Mukama, aliyimirira aluwa?#Yob 10:14, Zab 76:7; 143:2, Nak 1:6, Mal 3:2, Kub 6:17
4Naye waliwo okusonyiwa gy'oli,
Olyoke otiibwenga.#1 Bassek 8:39,40, Is 55:7, Yer 33:8,9, Dan 9:9, Bef 1:7
5Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira,
Era ekigambo kye lye ssuubi lyange.#Zab 33:20; 119:74, Is 26:8
6Emmeeme yange erindirira Mukama,
Okusinga abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
Ddala okusinga abakuumi bwe balindirira obudde okukya.#Zab 119:147; 123:2
7Ggwe Isiraeri, suubiriranga mu Mukama;
Kubanga awali Mukama we wali okwagala okwolubeerera,
Era awali ye we wali okununula okungi.#Zab 131:3
8Era oyo alinunula Isiraeri
Mu butali butuukirivu bwe bwonna.#Zab 119:9, Mat 1:21, Luk 1:68, Tit 2:14
Currently Selected:
Zabbuli 130: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.