YouVersion Logo
Search Icon

Zabbuli 128

128
Oluyimba olw'oku madaala.
Balina omukisa abatya Mukama
1Alina omukisa buli atya Mukama,
Atambulira mu makubo ge.#Zab 112:1, Nge 8:32
2Kubanga onoolyanga ebibala ebiva mu kukola kwo,
Oliba wa mukisa, era oliraba ebirungi.#Is 3:10
3Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu
ogubala ennyo mu nnyumba yo;
Abaana bo nga balinga ng'amatabi g'omuzeyituuni nga beetooloola emmeeza yo.#Zab 52:8, Ez 19:10
4Laba, bw'atyo bw'aliweebwa omukisa omuntu
Atya Mukama.
5Mukama anaakuwanga omukisa ng'ayima mu Sayuuni;
Naawe onoolabanga ebirungi nga bijja ku Yerusaalemi ennaku zonna ez'obulamu bwo.#Zab 134:3
6Owangaale olabe abaana b'abaana bo.
Emirembe gibeere ku Isiraeri.#Lub 50:23, Zab 125:5, Nge 17:6

Currently Selected:

Zabbuli 128: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

Video for Zabbuli 128