Zabbuli 127
127
Oluyimba olw'oku madaala; olwa Sulemaani.
Obukulu bw'okubeerawo kwa Mukama
1Mukama bw'atazimba nnyumba,
Abagizimba bakolera bwereere.
Mukama bw'atakuuma kibuga,
Omukuumi atunuulirira bwereere.#Zab 121:4
2Muteganira bwereere bwe mukeera okugolokoka,
era bwe mulwawo ennyo okwebaka,
Era bwe mulya emmere ey'okutegana,
Kubanga abaagalwa be abawa otulo.#Lub 3:17
3Laba, abaana bwe busika bwa Mukama;
N'ebibala eby'olubuto ye mpeera ye.#Lub 33:5, Mat 28:4
4Ng'obusaale bwe bubeera mu mukono gw'omuzira,
Abaana ab'omu buvubuka bwe bali bwe batyo.
5Alina omukisa omuntu omufuko gwe bwe gujjula abo;
Tebaakwatibwenga nsonyi,
Bwe banaayogereranga n'abalabe baabwe mu mulyango.
Currently Selected:
Zabbuli 127: LBR
Highlight
Share
Copy

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.