YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 2

2
Abasajja abagezigezi abaava ebuvanjuba
1Awo Yesu bwe yazaalibwa mu Besirekemu eky'e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, laba, abasajja abagezigezi abaava ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi,#Luk 2:1-7 2ne babuuza nti, “Kabaka w'Abayudaaya azaaliddwa ali ludda wa? Kubanga twalaba emmunyeenye ye mu buvanjuba, ne tujja okumusinza.”#Kubal 24:17 3Kerode kabaka bwe yawulira ne yeeraliikirira, era n'ab'e Yerusaalemi bonna. 4N'akuŋŋaanya bakabona abakulu bonna, n'abawandiisi ab'abantu, n'ababuuza Kristo gye yali agenda okuzaalirwa. 5Nabo ne bamugamba nti, “Mu Besirekemu eky'e Buyudaaya,” kubanga bwe kyawandiikibwa nnabbi bwe kityo nti,#Mi 5:2, Yok 7:42 6Naawe Besirekemu, mu nsi ya Yuda,
Toli mutono mu balangira ba Yuda;
Kubanga afuga aliva mu ggwe,
Alirunda abantu bange Isiraeri.
7Awo Kerode n'ayita abagezigezi kyama, n'ababuuliriza nnyo ebiro emmunyeenye bye yaakamala okuva lw'eyalabika. 8N'abasindika e Besirekemu, n'abagamba nti, “Mugende, munoonye nnyo, mulabe omwana bw'afaanana; naye bwe mumulabanga, ne mujja mumbuulira nange ndyoke ŋŋende mmusinze.” 9Bwe baamala okuwulira ebya kabaka, ne bagenda; laba ne baddamu okulaba emmunyeenye eyo, gye baalabira ebuvanjuba, n'ebakulembera, okutuusa lwe yajja n'eyimirira waggulu w'ekifo awaali omwana. 10Bwe baalaba emmunyeenye, ne basanyuka essanyu lingi nnyo nnyini. 11Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng'ali ne Malyamu nnyina; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basumulula ensawo zaabwe, ne bamutonera ebirabo bya zaabu, n'obubaane, n'omugavu.#Zab 72:10,15, Is 60:6 12Katonda bwe yabalabulira mu kirooto baleme okuddayo eri Kerode, ne bakwata ekkubo eddala, ne baddayo ewaabwe.
Omwana Yesu bamuddusiza e Misiri
13Laba, bwe baamala okugenda, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto, n'amugamba nti, “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, oddukire e Misiri obeere eyo okutuusa nze lwe ndikugamba, kubanga Kerode ajja okunoonya omwana okumutta.”#Kuv 2:15 14Awo Yusufu n'azuukuka, n'atwala omwana ne nnyina ekiro, n'agenda e Misiri; 15n'abeera eyo, okutuusa Kerode bwe yafa; ekigambo kituukirire Mukama kye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti, “Nnayita omwana wange okuva mu Misiri.”#Kos 11:1
Kerode alagira okutta abaana abato
16Awo Kerode, bwe yalaba ng'abalaguzi baamwefulidde, n'asunguwala nnyo, n'atuma okutta abaana ab'obulenzi bonna abaali e Besirekemu ne ku nsalo zaakyo zonna, abaali bawezezza emyaka ebiri n'abatannagituusa, okusinziira ku biro bwe byali bye yabuulirizaamu ennyo abalaguzi. 17Awo ekigambo nnabbi Yeremiya kye yayogera ne kiryoka kituukirira, bwe yagamba nti,#Mat 12:34; 22:33, Lub 3:15
18“Eddoboozi lyawulirwa mu Laama,
Okukaaba n'okukuba ebiwoobe ebingi,
Laakeeri ng'akaabira abaana be;
So tayagala kukubagizibwa,
kubanga tebakyaliwo.”#Lub 35:19
Yusufu ne Malyamu bava e Misiri badda e Nazaaleesi
19Naye Kerode bwe yamala okufa, laba, malayika wa Mukama n'alabikira Yusufu mu kirooto e Misiri, 20n'agamba nti, “Golokoka, otwale omwana ne nnyina, ogende mu nsi ya Isiraeri, kubanga abaali banoonya omwana okumutta bafudde.”#Kuv 4:19 21Awo Yusufu n'agolokoka, n'atwala omwana ne nnyina, n'agenda mu nsi ya Isiraeri. 22Naye bwe yawulira nti Alukerawo ye kabaka w'e Buyudaaya ng'asikidde kitaawe Kerode, n'atya okuddayo. Awo Katonda bwe yamulabulira mu kirooto, ne yeekooloobya, n'agenda mu kitundu ky'e Ggaliraaya. 23N'ajja n'abeera mu kyalo erinnya lyakyo Nazaaleesi, ekigambo bannabbi kye baayogera kituukirire nti, “Aliyitibwa Munazaalaayo.”#Luk 1:26; 2:39, Is 11:1; 53:2, Yok 1:46

Currently Selected:

Matayo 2: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in