YouVersion Logo
Search Icon

Matayo 3

3
Yokaana Omubatiza ateekateeka okujja kwa Kristo
(3:1-17)
Okubuulira kwa Yokaana Omubatiza
(Mak 1:1-8, Luk 3:1-18, Yok 1:19-28)
1 # Mak 1:1-8, Luk 1:13; 3:3-18 Mu nnaku ezo, Yokaana Omubatiza n'ajja mu ddungu ery'e Buyudaaya, nga abuulira, 2ng'agamba nti, “Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.”#Mat 4:17 3Kubanga Yokaana oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako, ng'agamba nti,
“Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti,
Mulongoose oluguudo lwa Mukama,
Muluŋŋamye amakubo ge.”#Is 40:3, Yok 1:23
4Naye Yokaana oyo yayambalanga engoye ez'ebyoya by'eŋŋamira, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato; n'emmere ye yalyanga nzige n'omubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.#2 Bassek 1:8 5Awo abantu baavanga e Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna, n'ensi yonna eriraanye Yoludaani, ne bajja gy'ali; 6n'ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe. 7Naye bwe yalaba Abafalisaayo abangi n'Abasaddukaayo abangi nga bajja gy'ali okubatizibwa, n'abagamba nti, “Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?”#Mat 12:34; 22:33, Lub 3:15 8Mubale ebibala ebisaanidde okwenenya; 9muleme kulowooza n'okwogera mu mitima nti, “Tulina Ibulayimu ye jjajjaffe; kubanga mbagamba nti Katonda ayinza mu mayinja gano okufuuliramu Ibulayimu abaana.#Bar 2:28,29; 4:12, Yok 8:33,39 10Naye kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti; buli muti ogutabala bibala birungi gunaatemebwa, gunaasuulibwa mu muliro.#Luk 13:6-9, Yok 15:6 11Nze mbabatiza n'amazzi olw'okwenenya; naye oyo ajja emabega wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze; oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.#Yok 1:15,26,27,33, Bik 1:5 12Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosa nnyo egguuliro lye; alikuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika, naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.”#Mat 13:30
Okubatizibwa kwa Yesu
(Mak 1:9-11, Luk 3:21-22)
13Awo Yesu n'ava e Ggaliraaya, n'atuuka ku mugga Yoludaani eri Yokaana, amubatize.#Mak 1:9-11, Luk 3:21-22, Yok 1:31-34 14Naye Yokaana yali ayagala okumugaana, ng'agamba nti, “Nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naye ate ggwe ojja gye ndi?” 15Naye Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kkiriza kaakano; kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna.” Awo Yokaana n'alyoka amukkiriza. 16Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi; laba, eggulu ne libikkuka, n'alaba Omwoyo gwa Katonda nga gukka ng'ejjiba, nga gujja ku ye; 17laba, eddoboozi ne liva mu ggulu, nga ligamba nti, “Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.”#Mat 17:5, Zab 2:7, Is 42:1

Currently Selected:

Matayo 3: LBR

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in