Matayo 13
13
Yesu ayigiriza ku bwakabaka obw'omu ggulu mu ngero
(13:1-53)
Olugero lw'omusizi
(Mak 4:1-9, Luk 8:4-8)
1Ku lunaku olwo Yesu n'afuluma mu nju, n'atuula ku lubalama lw'ennyanja. 2Ebibiina bingi ne bimukuŋŋaanirako, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atuula mu lyo; ekibiina kyonna ne kiyimirira ku lubalama.#Mak 4:1-20, Luk 8:4-15 3N'ayogera nabo bingi mu ngero, ng'agamba nti, “Laba, omusizi yafuluma okusiga; 4bwe yali ng'asiga, ensigo ezimu ne zigwa ku mabbali g'ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. 5Ensigo endala ne zigwa awali enjazi, awatali ttaka lingi; amangu ago ne zimera, kubanga tezaalina ttaka ggwanvu, 6enjuba bwe yavaayo, ne ziwotookerera; kubanga tezaalina mmizi, ne zikala. 7Ensigo endala ne zigwa mu maggwa; amaggwa ne gamera, ne gazizisa. 8Ensigo endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zibala emmere, endala kikumi (100), endala nkaaga (60), endala asatu (30). 9Alina amatu, awulire.”
Ekigendererwa mu ngero
(Mak 4:10-12, Luk 8:9-10)
10Awo abayigirizwa ne bajja awali Yesu, ne bamubuuza nti, “Kiki ekikwogeza nabo mu ngero?” 11N'abaddamu n'abagamba nti, “Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby'ekyama eby'obwakabaka obw'omu ggulu, naye bo tebaweereddwa. 12Kubanga buli alina, aliweebwa, era alisukkirirawo; naye buli atalina, aliggibwako ne kyali nakyo.#Mat 25:29, Mak 4:25, Luk 8:18 13Kyenva njogera nabo mu ngero; kubanga batunula, naye tebalaba, bawuliriza, naye tebawulira, era tebategeera. #Ma 29:4 14Naye Isaaya bye yalagula bibatuukiriridde, ebyayogera nti,”#Is 6:9,10, Yok 12:40, Bik 28:26,27
“ ‘Muliwulira buwulizi, naye temulitegeera;’”
“ ‘Muliraba bulabi, naye temulyetegereza.’ ”
15 “‘Kuba omutima gw'abantu bano gusavuwadde,’”
“ ‘N'amatu gaabwe gawulira bubi,’”
“ ‘N'amaaso gaabwe bagazibye;’”
“ ‘Baleme okulaba n'amaaso, n'okuwulira n'amatu,’”
“‘N'okutegeera n'omutima,’”
“‘N'okukyuka,’”
“‘Ne mbawonya.’”
16 “‘Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba; n'amatu gammwe, kubanga gawulira.’” #
Luk 10:23,24 17“‘Kubanga mazima mbagamba nti Bannabbi bangi n'abantu abatuukirivu abeegombanga okulaba bye mutunuulira, so tebaabiraba; n'okuwulira bye muwulira, so tebaabiwulira.’”
Yesu annyonnyola amakulu g'olugero lw'omusizi
(Mak 4:13-20, Luk 8:11-15)
18 “Kale nno mmwe muwulire amakulu g'olugero lw'omusizi. 19Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka, nga takitegedde, omubi oyo ajja, n'akwakula ekisigiddwa mu mutima gwe. Oyo ye yasigibwa ku mabbali g'ekkubo. 20N'oyo eyasigibwa awali enjazi, ye oyo awulira ekigambo, amangu ago n'akikkiriza n'essanyu; 21naye olw'okuba talina mmizi munda mu ye, bw'alwawo akaseera katono; bwe wabaawo ennaku n'okuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago yeesittala. 22N'oyo eyasigibwa mu maggwa, ye oyo awulira ekigambo; naye okweraliikirira ebintu eby'ensi, n'okulimbibwa eby'obugagga bizisa ekigambo, n'ekitabala.#Mat 6:19-34, 1 Tim 6:9 23N'oyo eyasigibwa ku ttaka eddungi, ye oyo awulira ekigambo, n'akitegeera; oyo abalira ddala ebibala, omulala aleeta kikumi (100), omulala nkaaga (60), n'omulala asatu (30).”
Olugero lw'eŋŋaano ey'omu nsiko
24Awo Yesu n'abaleetera olugero olulala n'ayogera nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufanaanyizibwa n'omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye;#Mat 13:36-43 25naye abantu bwe baali beebase omulabe we n'ajja n'asigamu eŋŋaano ey'omu nsiko mu ŋŋaano ennungi, n'agenda. 26Naye bwe yameruka, bwe yayanya, n'erabika n'eŋŋaano ey'omu nsiko. 27Abaddu be ne bajja ne bagamba omwami nti, ‘Ssebo, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Kale yali etya okubaamu eŋŋaano ey'omu nsiko?’ 28N'abagamba nti, ‘Omulabe ye yakola atyo.’ Abaddu ne bamugamba nti, ‘Kale oyagala tugende tugikoolemu?’ 29Naye n'agamba nti, ‘Nedda; mpozzi bwe munaaba mukoolamu eŋŋaano ey'omu nsiko, munaggiramu n'eŋŋaano yennyini. 30Muleke bikule byombi bituuse amakungula; mu biro eby'amakungula ndigamba abakunguzi nti Musooke mukuŋŋaanye eŋŋaano ey'omu nsiko, mugisibe emiganda eyokebwe, naye eŋŋaano yennyini mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.’ ”#Mat 3:12
Olugero lw'akaweke ka kaladaali
(Mak 4:30-32, Luk 13:18-19)
31Yesu n'abaleetera olugero olulala, ng'agamba nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'akaweke ka kaladaali, omuntu ke yaddira, n'akasiga mu nnimiro ye;#Mak 4:30-32, Luk 13:18,19 32akasigo kano ke katono okusinga ensigo zonna; naye bwe kakula, kaba kanene okusinga ebimera byonna, ne kavaamu omuti, n'ennyonyi ez'omu bbanga ne zijja, ne zibeera ku matabi gaagwo.”
Olugero lw'ekizimbulukusa
(Luk 13:20-21)
33Yesu n'abagamba olugero olulala nti, “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'ekizimbulukusa, omukazi kye yaddira, n'akissa mu bubbo busatu obw'obutta, n'okuzimbulukuka ne buzimbulukuka bwonna.”#Luk 13:20,21
Yesu abuuzibwa ku by'olugero lw'eŋŋaano ey'omu nsiko
34Ebigambo ebyo byonna Yesu yabigamba ebibiina mu ngero; naye awatali lugero teyabagamba kigambo kyonna; #Yok 16:25 35kituukirire ekyayogererwa mu nnabbi, ng'agamba nti,
Ndyasamya akamwa kange mu ngero;
Ndireeta ebigambo ebyakwekebwa okuva ku kutondebwa kw'ensi.#Zab 78:2
36Awo Yesu n'asiibula ebibiina, n'ayingira mu nju, abayigirizwa be ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Tutegeeze olugero olw'eŋŋaano ey'omunsiko eyali mu nnimiro.”#Mat 13:24-30 37Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Asiga ensigo ennungi ye Mwana w'omuntu; 38ennimiro ye nsi; ensigo ennungi, abo be baana b'obwakabaka; n'eŋŋaano ey'omu nsiko be baana b'omubi;#1 Kol 3:9 39omulabe eyagisiga ye Setaani; amakungula ye nkomerero y'ensi; n'abakunguzi be bamalayika. 40Kale ng'eŋŋaano ey'omu nsiko bw'ekuŋŋaanyizibwa n'eyokebwa mu muliro; bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi.#Yok 15:6 41Omwana w'omuntu alituma bamalayika be, nabo baliggyamu mu bwakabaka bwe ebintu byonna ebisittaza, n'abo abakola obubi,#Zef 1:3, Mat 25:31-46; 7:23 42balibasuula mu kikoomi eky'omuliro; mwe muliba okukaaba amaziga n'okulumwa obujiji.#Mat 8:12 43Kale abantu abatuukirivu balimasamasa ng'enjuba mu bwakabaka bwa Kitaabwe. Alina amatu, awulire.”#Dan 12:3
Olugero lw'eky'obugagga ekyakisibwa
44 “Obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana n'eky'obugagga ekyakisibwa mu lusuku; omuntu kyeyalaba, n'akikweka; era olw'essanyu n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agula olusuku olwo.” #
Mat 19:29, Luk 14:33, Baf 3:7, Nge 2:4
Olugero lw'eruulu ey'omuwendo
45 “Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana omuntu omusuubuzi anoonya eruulu ennungi, 46bwe yalaba eruulu emu ey'omuwendo omungi, n'agenda n'atunda by'ali nabyo byonna, n'agigula.”#Nge 8:10,11
Olugero lw'ekiragala
47 “Nate, obwakabaka obw'omu ggulu bufaanana ekiragala, kye basuula mu nnyanja, ne kikuŋŋaanya ebyennyanja ebya buli ngeri; #Mat 22:9,10 48bwe kyajjula, ne bakiwalulira ku ttale; ne batuula, ne bakuŋŋaanyiza ebirungi mu nkanga, ebibi ne babisuula. 49#Mat 25:32Bwe kityo bwe kiriba ku nkomerero y'ensi, bamalayika balijja, balyawulamu abantu ababi mu batuukirivu,#Mat 25:32 50balibasuula mu kikoomi eky'omuliro; mwe muliba okukaaba amaziga n'okulumwa obujiji.”
51 “Mubitegedde ebigambo bino byonna?” Ne bamugamba nti, “Weewaawo.” 52N'abagamba nti, “Buli muwandiisi eyayigirizibwa eby'obwakabaka obw'omu ggulu, kyava afaanana n'omuntu alina ennyumba ye, aggya mu tterekero lye ebintu ebiggya n'ebikadde.”
Ab'e Nazaaleesi bagaana okukkiriza Yesu
(Mak 6:1-6, Luk 4:16-30)
53Awo olwatuuka Yesu bwe yamala engero zino, n'avaayo.#Luk 4:15-30 54Bwe yatuuka mu nsi y'ewaabwe n'abayigiriza mu kkuŋŋaaniro lyabwe, n'okuwuniikirira ne bawuniikirira, ne bagamba nti, “Ono yaggya wa amagezi gano, n'eby'amaanyi bino?#Mat 7:28; 11:1; 19:1; 26:1 55Ono si ye mwana w'omubazzi? Nnyina si gwe bayita Malyamu? Ne baganda be Yakobo, ne Yusufu, ne Simooni, ne Yuda? 56Ne bannyina bonna tebali waffe? Kale ono yaggya wa ebigambo bino byonna?”#Yok 7:15,52 57Ne bamunyiigira. Naye Yesu n'abagamba nti, “Nnabbi tabulwa kitiibwa, wabula mu nsi y'ewaabwe, ne mu nnyumba y'ewaabwe.”#Yok 4:44 58Era teyakolerayo bya magero bingi olw'obutakkiriza bwabwe.
Currently Selected:
Matayo 13: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.