Matayo 12
12
Etteeka Erikwata ku Ssabbiiti
(Mak 2:23-28, Luk 6:1-5)
1Awo mu biro ebyo Yesu n'ayita mu nnimiro y'eŋŋaano ku ssabbiiti; abayigirizwa be ne balumwa enjala, ne batandika okunoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya.#Mak 2:23-28, Luk 6:1-5, Ma 5:14; 23:25 2Naye Abafalisaayo bwe baalaba, ne bamugamba nti, “Laba, abayigirizwa bo bakola eky'omuzizo ekitakkirizibwa kukolerwa ku ssabbiiti.”#Kuv 20:10 3Naye Yesu n'abagamba nti, “Temusomangako Dawudi kye yakola, bwe yalumwa enjala, ne be yali nabo;#1 Sam 21:1-6 4bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya emigaati egy'okulaga egyali egy'omuzizo ye okugirya, newakubadde be yali nabo, wabula bakabona bokka?#Leev 24:9 5Nantiki temusomanga mu mateeka nti, ku Ssabbiiti, mu Yeekaalu, bakabona baasobya ssabbiiti, so ne batazza musango?#Kubal 28:9 6Naye mbagamba nti ali wano asinga Yeekaalu obukulu. 7Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti Njagala ekisa, so si ssaddaaka, temwandinenyezza abatazzizza musango.#Mat 9:13, Kos 6:6 8Kubanga Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.”
Yesu awonya omuntu ow'omukono ogukaze
(Mak 3:1-6, Luk 6:6-11)
9Awo Yesu n'avaayo, n'ajja mu kkuŋŋaaniro lyabwe;#Mak 3:1-6, Luk 6:6-11 10era, laba, mwalimu omuntu eyalina omukono ogukaze, ne bamubuuza, nga bagamba nti, Kirungi okuwonyeza omuntu ku ssabbiiti? #Luk 14:3 11Yesu n'abaddamu nti, “Ani mu mmwe, bw'aliba n'endiga ye emu, n'emala egwa mu bunnya ku ssabbiiti, ataligikwata n'agiggyamu?#Luk 14:5 12Omuntu tasinga nnyo ndiga? Kale kirungi okukola obulungi ku ssabbiiti.” 13N'alyoka agamba omuntu oyo nti, “Golola omukono gwo.” N'agugolola; ne guwona, ne guba ng'ogwokubiri. 14Naye Abafalisaayo ne bafuluma, ne bamwekobaana bwe banaamuzikiriza.#Yok 5:16
Omuweereza wa Katonda
15Yesu bwe yategeera n'avaayo, abantu bangi ne bagenda naye; n'abawonya bonna, 16n'abakomako baleme okumwatuukiriza.#Mat 8:4 17Kino kituukirize ekyayogererwa mu Isaaya nnabbi nti,#Is 42:1-4; 41:9
18“Laba omuweereza wange gwe nnalondamu;#Mat 3:17
Gwe njagala, asanyusa emmeeme yange.
Ndimuteekako Omwoyo gwange,
Alibuulira amawanga eby'obwenkanya.
19Taliyomba, so talireekaana;
So tewaliba muntu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo.
20Olumuli olwatifu talirumenya,
So n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza,
Okutuusa lw'alireetera obwenkanya okuwangula;
21era mu linnya lye amawanga gonna mwe galisuubirira.”
Yesu ne Beeruzebuli
(Mak 3:20-30, Luk 11:14-23)
22Awo ne baleetera Yesu omuntu aliko dayimooni, ng'azibye amaaso n'omumwa, n'amuwonya, oyo eyali azibye omumwa n'ayogera, era n'alaba.#Mak 3:30, Luk 11:14-26,29-32 23Ebibiina byonna ne bisamaalirira, ne byogera nti, “Ono ayinza okuba nga ye mwana wa Dawudi?” 24Naye Abafalisaayo bwe baawulira, ne boogera nti, “Oyo tagoba dayimooni, nga akozesa obuyinza obulala bwonna wabula obwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.”#Mat 9:34 25Yesu bwe yamanya okulowooza kwabwe n'abagamba nti, “Buli bwakabaka bwe bwawukanamu bwokka na bwokka buzikirira; na buli kibuga oba nnyumba bw'eyawukana yokka na yokka erisasika; 26ne Setaani bw'agoba Setaani aba ayawukanye yekka na yekka; n'obwakabaka bwe bulisigalawo butya? 27Oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? Kale abo be balibasalira omusango. 28Naye oba nga nze ngoba dayimooni ku bw'Omwoyo gwa Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde.#1 Yok 3:8 29Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nju y'omuntu ow'amaanyi, n'anyaga ebintu bye, wabula ng'asoose kusiba ow'amaanyi oli? N'alyoka anyaga enju ye.#Is 49:24, 1 Yok 4:4 30Omuntu atabeera nange mulabe wange; era omuntu atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.#Mak 9:40, Yok 11:52 31Kyenva mbagamba nti Abantu balisonyiyibwa buli kibi n'eky'okuvvoola, naye okuvvoola Omwoyo tekulisonyiyika.#Beb 6:4,6; 10:26, 1 Yok 5:16 32Buli muntu alivvoola Omwana w'omuntu alisonyiyibwa; naye buli muntu alivvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa, newakubadde mu mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja.”#Luk 12:10, 1 Tim 1:13
Omuti n'ebibala byagwo
(Luk 6:43-45)
33 “Mufuule omuti okuba omulungi, n'ebibala byagwo bibe birungi; oba mufuule omuti omubi, n'ebibala byagwo bibe bibi; kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo. #
Mat 7:17
34Mmwe abaana b'emisota, muyinza mutya okwogera ebigambo ebirungi nga muli babi? Kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.#Mat 3:7, Yok 8:43; 12:39, Bar 8:7 35Omuntu omulungi ebirungi abiggya mu tterekero lye eddungi, n'omuntu omubi ebibi abiggya mu tterekero lye ebbi.#Luk 6:45 36Era mbagamba nti Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw'omusango. 37Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n'ebigambo byo bye birikusinzisa omusango.”
Okusaba akabonero
(Mak 8:11-12, Luk 11:29-32)
38Awo abawandiisi abalala n'Abafalisaayo ne bamuddamu ne bagamba nti, “Omuyigiriza, twagala tulabe akabonero akava gyoli.” #Mat 16:1, 1 Kol 1:22 39Naye Yesu, n'addamu n'abagamba nti, “Ab'emirembe gino emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero; so tebaliweebwa kabonero wabula akabonero ka nnabbi Yona. 40Kuba nga Yona bwe yamala ennaku essatu (3), emisana n'ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'alimala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu mutima gw'ettaka.#Yon 1:17 41Abantu ab'e Nineeve baliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era balibasinzisa omusango; kubanga Yona bwe yababuulira ne beenenya; era, laba, asinga Yona ali wano.#Yon 3:5 42Kabaka omukazi ow'omu bukiikaddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era alibasinzisa omusango; kubanga yava ku nkomerero y'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano.”#1 Bassek 10:1-10
Okudda kwa dayimooni
(Luk 11:24-26)
43 “Naye omwoyo omubi bwava ku muntu, atambula mu nsenyi enkalu, nga anoonya aw'okuwummulira, naye n'abulwa. 44Kale agamba nti, ‘N'addayo mu nnyumba yange mwe nnava;’ bw'atuukamu, agiraba nga njereere, enyiridde, era ng'erongoosebbwa. 45Awo agenda, n'aleeterako dayimooni abalala musanvu abamusinga obubi, nabo bwe bayingira babeera omwo; n'eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo birisinga obubi eby'olubereberye. Bwe kiriba bwe kityo eri abantu ab'emirembe gino emibi.”#2 Peet 2:10
Baganda ba Yesu ne nnyina
(Mak 3:31-35, Luk 8:19-21)
46 #
Mak 3:31-35, Luk 8:19-21 Yesu bwe yali ng'akyayogera n'ebibiina, laba, nnyina ne baganda be baali bayimiridde ebweru, nga baagala kwogera naye.#Mat 13:55 47Omuntu omu n'amugamba nti, “Laba, nnyoko ne baganda bo bayimiridde ebweru, baagala kwogera naawe.” 48Naye Yesu n'addamu n'agamba oyo amubuulidde nti, “Ani mmange? Era be baani baganda bange?” 49N'agolola omukono ggwe eri abayigirizwa be, n'agamba nti, “Laba, mmange ne baganda bange! 50Kubanga buli akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala, ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.”#Bar 8:29, Yok 15:14
Currently Selected:
Matayo 12: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.