Matayo 14
14
Ebikolwa bya Yesu bimwanika mu abantu
(13:54—16:20)
Okuttibwa kwa Yokaana Omubatiza
(Mak 6:14-29, Luk 9:7-9)
1Mu biro ebyo Kerode owessaza n'awulira ettutumu lya Yesu,#Mat 6:14,17-29, Luk 9:7-9, Luk 3:19,20 2n'agamba abaddu be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza; azuukidde mu bafu; era eby'amaanyi bino kyebiva bikolera mu ye.” 3Kubanga Kerode yali akutte Yokaana, n'amusiba, n'amuteeka mu kkomera olwa Kerodiya, mukazi wa Firipo muganda we.#Mat 11:2 4Kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Kya muzizo ggwe okufuula Kerodiya mukazi wo.”#Leev 18:16; 20:21 5Kerode bwe yali ayagala okumutta, naye n'atya abantu, kubanga baamulowooza nga ye nnabbi.#Mat 21:26 6Bwe lwatuuka olunaku olw'okujjukirirako amazaalibwa ga Kerode, muwala wa Kerodiya n'azina mu maaso gaabwe, n'asanyusa Kerode. 7Awo Kerode n'asuubiza n'ekirayiro okumuwa kyonna kyonna ky'anaasaba. 8Ng'apikirizibwa nnyina, omuwala, n'agamba nti, “Mpeera wano ku lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.” 9Kabaka n'anakuwala nnyo; naye olw'ebirayiro bye, n'olw'abo abaali batudde nga balya naye, n'alagira okugumuwa; 10n'atuma, mu kkomera ne batemako Yokaana omutwe.#Mat 17:12 11Ne baleeta omutwe gwa Yokaana ku lutiba, ne baguwa omuwala; naye n'agutwalira nnyina. 12Abayigirizwa ba Yokaana ne bajja, ne batwala omulambo gwe, ne bamuziika; ne bagenda ne babuulira Yesu.
Yesu aliisa abantu enkumi taano
(Mak 6:30-44, Luk 9:10-17, Yok 6:1-14)
13Awo, Yesu bwe yawulira ebyo, n'aviirayo mu lyato, n'agenda kyama mu kifo eky'eddungu; ebibiina by'abantu bwe byawulira, ne biva mu bibuga ne bimugoberera nga biyita ku lukalu.#Mak 6:31-44, Luk 9:10-17, Yok 6:1-13 14Yesu bwe yava mu lyato, n'alaba ekibiina kinene eky'abantu, n'abasaasira, n'awonya abalwadde baabwe.#Mat 9:36 15Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa ne bajja w'ali, ne bamugamba nti, “Wano ddungu, ate n'obudde buyise nnyo; siibula abantu, bagende mu bibuga, beegulire emmere.” 16Naye Yesu n'abagamba nti, “Tewali kubeetaagisa kugenda; mmwe mubawe eby'okulya.” 17Ne bamugamba nti, “Tetulina kintu wano okuggyako emigaati etaano, n'ebyennyanja bibiri.” 18Yesu n'agamba nti, “Mubindeetere wano.” 19N'alagira ebibiina okutuula ku muddo; n'atoola emigaati etaano n'ebyennyanja bibiri, n'atunula waggulu mu ggulu, ne yeebaza, n'amenyamu emigaati n'agiwa abayigirizwa be, abayigirizwa ne bagigabira ebibiina. 20Bonna ne balya, ne bakkuta, ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri.#2 Bassek 4:44 21N'abo abaalya baali abasajja ng'enkumi ttaano (5,000), nga tossizako bakazi n'abaana.
Yesu atambulira ku mazzi
(Mak 6:45-52, Yok 6:15-21)
22Amangwago Yesu n'awaliriza abayigirizwa be okusaabala, bamukulembere okugenda emitala w'eri, ye amale okusiibula ebibiina.#Mak 6:45-56, Yok 6:15-21 23Bwe yamala okusiibula ebibiina, n'alinnya ku lusozi yekka okusaba; obudde ne buwungeera, nga Yesu aliyo bw'omu.#Luk 6:12; 9:18 24Naye eryato lyali limaze okutuuka mu buziba, nga lyesunda n'amayengo, kubanga omuyaga gwali gubafuluma mu maaso. 25Awo ekiro mu kisisimuka ekyokuna Yesu n'ajja gyebali, ng'atambulira ku nnyanja. 26Abayigirizwa bwe baamulaba ng'atambulira ku nnyanja, ne bakwatibwa ensisi, ne bagamba nti, “Dayimooni!” Ne baleekaana olw'okutya. #Luk 24:37 27Amangwago Yesu n'ayogera nabo, n'agamba nti, “Muddemu omwoyo, nze nzuuno; temutya.” 28Peetero n'amuddamu n'agamba nti, “Mukama wange, oba nga ggwe wuuyo, ndagira nzije gy'oli nga ntambulira ku mazzi.” 29Yesu n'agamba nti, “Jjangu.” Peetero n'ava mu lyato, n'atambulira ku mazzi, okugenda eri Yesu. 30Naye, bwe yalaba omuyaga, n'atya, n'atandika okukka mu mazzi nga asaanawo, n'akaaba, n'agamba nti, “Mukama wange, ndokola.” 31Amangwago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amugamba nti, “Ggwe alina okukkiriza okutono, kiki ekikubuusizzabuusizza?”#Mat 8:26 32Bombi bwe baalinnya mu lyato, omuyaga ne guggwaawo. 33N'abo abaali mu lyato ne bamusinza, nga bagamba nti, “Mazima oli Mwana wa Katonda.”
Yesu awonya abalwadde e Genesaleeti
(Mak 6:53-56)
34Bwe baamala okuwunguka, ne batuuka ku lukalu olw'e Genesaleeti. 35Abantu baayo bwe baamumanya, ne batuma mu nsi eyo yonna eriraanyeewo, ne bamuleetera bonna abalwadde; 36ne bamwegayirira bakomeko bukomi ku lukugiro lw'ekyambalo kye; bonna abaakomako ne bawonyezebwa ddala.#Mat 9:21, Luk 6:19
Currently Selected:
Matayo 14: LBR
Highlight
Share
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.